Famire ya Sudhir eyiye evvu ly'omugenzi Rajiv mu nnyanja

19 hours ago

NAGAGGA Sudhir Ruparelia ne ffamire ye bakoze omukolo ogusembayo okuweerekera omwoyo gw’omwana waabwe Rajiv Ruparelia 35, bwe bayiye evvu lye mu nnyanja Nnalubaale wakati

Aba Famire ya Rajiv nga bali ku nnyanja Nalubaale gyebaayiye Evvu ly'omugenzi rajiv
NewVision Reporter
@NewVision
173 views

NAGAGGA Sudhir Ruparelia ne ffamire ye bakoze omukolo ogusembayo okuweerekera omwoyo gw’omwana waabwe Rajiv Ruparelia 35, bwe bayiye evvu lye mu nnyanja Nnalubaale wakati.

Sudhir eyabadde ne mukyala we Joystna Ruparelia, bawala baabwe  okuli Meera Ruparelia ne Sheena Ruparelia, nnamwandu wa Rajiv Naiya Ruparelia ssaako ne bbeebi we Inara Ruparelia ow’emyaka 3, basoose ku genda ku nkulungo y’oluguudo y’e Busaabala ku luguudo lwa Kajjansi – Munyonyo Expressway awafiira Rajiv ne bateekawo ebimuli ssaako n’okusabirawo.

Aba Famire ya Sudhiru nga bayiwa evvu lya Rajiv mu nnyanja

Aba Famire ya Sudhiru nga bayiwa evvu lya Rajiv mu nnyanja

Wano bamazeewo essaawa nnamba oluvannyuma ne bagenda butereevu e Munyonyo ku woteeri yaabwe eya Speke Resort Munyonyo  we basanze amaato mukaaga ag’omulembe agabadde gabalinze ne bagatulira ne boleekera mu makati ga Nnalubaale.

Amaato  gano amalala ataano agabadde gawerekedde ku lya Sudhir mweyabadde ne ffaamire ye g’abadde gatambula tegaleesewo kabanga kanenne okuva ku lirye ne ffamire ye nga kuliiko ne balubbira abakugu mu kuwuga okulaba nti omugagga n’abantu be tekubeerako buzibu bwonna bumutuukaako.

Sudhir ku lyato kuno yabaddeko n’abalyowi b’e myoyo mu nzikkiriza yaba ‘Hindu’   abaweera era bwe batuuse mu nnyanja wakati ne bakkanya nti kye kifo ekituufu webabeera bawumuliza omwoyo gw’omwana waabwe amaato ne bagajjamu omuliro ne gatandiika okutengejjera ku nnyanja nga Sudhir n’aba ffamire ye bwe bakola emikolo gy’okuyiwa evvu lya Rajiv mu nnyanja wakati mu kugobeerera obulombolombo bw’e ddiini y’e ‘Hindu’.

            Nga batandiise omukolo guno akatambi kalaaga eryato ly’omugagga Sudhir ery’e bbeeyi erivugibwa omuzungu kweyabadde ne ffamire ye nga waliwo omuntu amuwa akabookisi  omwabadde evvu lya Rajiv nakawunziika mu nnyanja olwo akagoye akalangi emyufu ne kagwa mu mazzi akatebereezebwa okuba nga mwebaabadde basibye evvu lye.

            Oluvannyuma Sudhir alabibwa nga nakabookisi anasulaayo mu nnyanja olwo n’aba ffamire okwabadde maama w’omugenzi Joystna, bannyina Meera ne Sheena ssaako aboluganda abalala ne batandiika nabo okuyuwaayo ebimuli ebyabadde mu buseere obuwunde obulungi  mu nnyanja bakira bwe basaaba essaala era nga kino kyatutte ebbanga eriwera.

Aba Famire ya Rajiv nga bayiwa evvu lya Rajiv mu nnyanja Nalubaale

Aba Famire ya Rajiv nga bayiwa evvu lya Rajiv mu nnyanja Nalubaale

            Sudhir yakakkasizza Bukedde nti omukolo guno bagukoze okusibula omwana waabwe n’e bigambo eby’e nnaku “Weeraba mutabani Rajiv tujja kusubwa”.

            LWAKI ABAYINDI BAYUWA EVVU LY’ABANTU BAABWE MU NNYANJA.

Mu buwangwa bwa Abayindi ab’e ddiini yaba “Hindu” okufa tekulabibwa nga ye nkomerero wabula omwoyo okukyuka okuva mu mbeera emu okudda mu nddala.

Omukolo gw’okuyiwa evvu ly’omugenzi guyitiibwa “asthi Visarjan” era nga kikolebwa ng’akabonero akalaga obutuukkuvu era nga aba Hindu abasinga bakagobeerera mu nsi yonna nga n’abayindi b’omu Uganda obatwaliddemu era wanp e nnyanja Nnalubaale yeesinga okwetanirwa okukoleerwako emikolo gino.

Okusinziira ku biwandiiko byaba ‘Hindu’ oluvannyuma lw’okwokya omugenzi, evvu lye balina okuliyuwa mu nnyanja entukuvu okuyamba omwoyo gwe okufuna eddembe okuddamu okweyubula.

Mu mbeera y’emu ng’omuyindi eyandiyagadde okutwala evvu ly’omwana we omukolo agukolere e Buyindi tasobodde oba tayagadde afuna mu Uganda omugga omunenne nga “River Nile” oba Nnalubaale naliyuwamu.   

Okusinziira ku lipoota ya poliisi y’e biduuka  Rajiv yagwa ku kabenje nga May/03/2025 ku nkulungo y’e Busaabala ng’ava e Kajjansi okudda e Munyonyo ku ssaawa 7:54 ez’ekiro mmotoka ye ekika kya UAT 638L ey’ebbeeyi bwe yamulemerera nafiirawo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.