Poliisi ye Naggalama etaayizza ababbi b'Ente babiri ne babakuba amasasi

16 hours ago

POLIISI y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ezingizza emmotoka ey’ebbeeyi ekika kya Toyota Prado TX, No. UAZ 797G. omubadde mutambulizibwa ente enzibe ne kubbako ababbi babiri amasaasi agabatiddewo.

Ente ezibadde zibbiddwa
NewVision Reporter
@NewVision
105 views

POLIISI y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ezingizza emmotoka ey’ebbeeyi ekika kya Toyota Prado TX, No. UAZ 797G. omubadde mutambulizibwa ente enzibe ne kubbako ababbi babiri amasaasi agabatiddewo.

Ekikwekweto kino kyakoleddwa mu kabuga k’e Nakasajja ku luguudo oluva  mu Kalagi okudda e Gayaza ku Lwokusattu nga bukya poliisi mweyasuliza ababbi b’ente bano ababadde bazipakidde mu Prado TX nga kizibu omuntu okumanya nta yabadde etambuza nte.

Ente ezibadde zibbiddwa

Ente ezibadde zibbiddwa

            Ente zino zibadde zakula ne ziwoola nga kuliiko eya kivuvvu ne myufu bbiri omuli ebidugavu.

            Kigambibwa nti omuserikale wa poliisi y’e Naggalama eyabadde kukulawuna mu Kabuga k’e Kalagi ekiro ku ssaawa nga 9:00 yalabye mmotoka eno ekika kya Prado ng’etambula eringa eyetiise ennyo nagisuubiriza okubeera nga erina ebibbe byetambuza.

Omuserikale ono yasazeewo okuyimiriza mmotoka eno wabula negaana kwekusalawo okulemerako nagigoba ng’ali ne banne ne bagikwattira mu kabuga k’e Nakasajja okugenda okutunnula munda waayo nga yetisse ente sattu ekintu ekitakkirizibwamu mmotoka ya buyonjjo.

Wakati mu poliisi okugoba mmotoka eno abantu babiri abatebeerezebwa okuba ababbi b’e nte bafubutussemu ne badduka ate abalala babbiri poliisi n’ebakuba amasaasi agabatiddewo ne batwalibwa mu ggwanika lya KCCA e Mulago   emirambo gyabwe gye gikuumirwa mu kiseera kino.

 Poliisi  mu kiseera kino ekola ekisoboka okulaba nga ezuula baani ababadde bannannyini nte zino gye bazibbye gattako okuzuula abafubutuse mu mmotoka ne badduka.

            Gyo emirambo gy’abantu ababbiri abafudde n’okutuusa kati teginazuulibwako bigikwatako era nga gikyakuumirwa mu ggwanika lya KCCA e Mulago.

Emmotoka omubadde eny enzibe

Emmotoka omubadde eny enzibe

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano  ASP /Luke Owoyesigyire yasiimye omulimu aba poliisi y’e  Nagalama gwe bakoze okubeera n’eriiso ejoogi gattako n’okuyimukkiraawo mu bwangu ne basuza ababbi bano omunyago.

Owoyesigyire yayongeddeko nti obubbi bwe nte okwettoloola eggwanga lyonna mu kiseera kino bulinye enkadago era nga kitebeerezebwa nti emmotoka eno  y’emu kwezo abazibba mwe baabadde bazitambuliza okuzitwala mu butale

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.