Ssentebe amaze emyaka 40 ng’afuga ekyalo alondeddwa ku bw’omuluka gwa Kyebando mu diviizoni y’e Kawempe n’asekerera abalowooza nti abaludde mu buyinza abantu baabakoowa.
Vicent sserunjogi, ow’e Kyebando yasagambizza oluvannyuma lw’okulangirirwa nga ssentebe w’omuluka nga tavuganyiziddwa oluvanNyuma lw’okumala ebbanga eddene ng’aweereza ku bukulembeeze bwa LC n’ategeeza nti obumanyirivu bw’alina bwe bulaga nti abantu bakyamwesiga.
Ono alangiriddwa Nsenga Wilson atwala ebyokulonda wakati mu kusagambiza okuva ku bantu abamwesize okubakulembera.
Ye kamiisona mu minisitule y’ebyettaka, John fisher Kasenge abadde omugenyi ow’enjawulo asiimye ab’obukiiko olw’okwolesa obumu ne beerondamu abakulembeze.
Kasenge akuutidde ab’obukiiko okusoosoowaza empeereza eri abantu n’okulondoola pulojekiti za gavumenti.