Ababbi abatannategeerekeka, balumbye amaka g'omutuuze e Mukono ne balimba omukozi w'awaka ne banyaga obukadde 10, ttivvi ssatu n'emmundu.
Bibadde mu Upper Nabuti e Mukono, ababbi, bwe balumbye omukozi wa waka ne bamulimba nga bboosi we, bwe yabadde abatumye ttivvi ne bayingira ne bazitwala ssaako ssente obukadde 10 n'emmundu eyabadde mu bikini.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti basobodde okuzuula emmundu kyokka n'alabula abantu okwewala abafere.