Bya Paul Galiwango ne Fatumah Nalubega
ABABBI bapanze olukwe n’akaana k'oku luguudo ak'emyaka 13 ne babba edduuka lya bukadde e Bwaise ne bakalekamu ne badduka.
Bino bibadde mu zooni ya Kamalimali mu muluka gwa Bwaise III, ababbi abatannategeereka muwendo bwe baakozesezza akaana k’oku luguudo okubaweereza ebintu okuva mu dduuka era poliisi mu Kawempe yatandise dda omuyiggo ku babbi bano be basoose okulowooza nti mwebali mu dduuka.
Abatuuze olwategedde nti ababbi bali munda, nga bayambibwako poliisi y'e Kawempe n’eye Bwaise baazinzeeko ekifo era ne basala enzigi okukwata ababbi bano, we baazuulidde akaana akato akabategeezeza nti ababbi abakaleese mwebali bambadde obukookolo wabula oluvannyuma lw’okutinkula ebintu n’okufefeta buli wamu nga tebalabikako, poliisi yawalirizidwa okubakumu omukka ogubalagala emirundi egiwera wabula nga teri kivaayo.
Abantu Nga Balindiridde Okulaba Ku Babbi
Omwana olwamubuuziza engeri gye yatuusemu mu dduuka wakati mu kulukusa amaziga yategeezezza nti waliwo abasajja babiri abazze nga bambadde obukookolo abaamusanze ne bamulagira okuyingira munda era ne bamugamba nti singa agaana baakumukuba ennyondo ku mutwe.
Abamu ku baana abasula ku kkubo abatemeza ku poliisi bagamba nti abasajja babiri bazze nga bambadde obukookolo nga bali n’omwana ne babasanga nga bazannya ne babagobawo, baagenze okuwulira nga bakoona, kwe kugenda ne bategeeza poliisi kyokka ate poliisi olwatuuse bo be yatandikiddeko okukuba emiggo.
Ababbi bano okuyingira mu dduuka baasaze ebbaati ne babbomola siringi ewagambibwa nti we baayisizza omwana n'agwa munda era ne batandika okumulagirira ky’aba akola nga bw’abawereza.
Poliisi ng'eyambibwako abatuuze kyabatwalidde essaawa ezisukka mu 6 nga bakyali mu mukufuukuza wabula nga tewali kyebalaba.
Omwana Eyasangidwa Mu Dduuka Ate Munda Ye Muserikale Ng'afuukuza
Akulira poliisi 'ye Bwaise, Francis Nimusiima yeebazizza abatuuze olw’okukolaganira awamu ne poliisi ne bagiwa amawulire mu budde n’okukolera awamu okulaba nga bakwata ababbi era n’akakasa nti tebaasobodde kukwata babbi ababiri ababadde boogerwako nga kirabika babadde bakozesa mwana n’asaba abatuuze okwongera okukolera awamu ne poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Omwana yatwaliddwa ku poliisi e Kawempe wakati mu bukuumi okuva ku batuuze ababadde baagala okumukuba, ng'okunoonyereza bwek ugenda mu maaso.