ABABAKA ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyenguudo n’entambula, bakooneddemu ennamba z’ebidduka ezirimu obuuma obubirondoola, ne balaga ebyetaaga okutereezaamu, omulimu gwazo okutambula obulungi.
Ababaka nga bakulembeddwa ssentebe w’akakiiko, Mwine Mpaka, baalaze obukulu bw’ennamba z’ebidduka eza digito, bwe baabadde bagenze okwetegereza engeri ennamba zino gye zikolamu, ku kitebe kya Poliisi e Naguru.
Ababaka okwesitula okugenda e Naguru kyaddiridde abantu ab’enjawulo okwemulugunya eri akakiiko, nga balaga obutali bumativu ku ngeri enteekateeka eno mgy’ekolebwamu. Essira lyasinga kwesigamizibwa ku kulondoola ebidduka ebiba bibbiddwa, n’ebidduka ebizza emisango oba ebitambuliramu abazzi b’emisango, okuzuula oba pulojekiti eno ebituukiriza bulungi.

Omubaka Mwine Mpaka (ku kkono), AIGP Felix Baryamwisaki dayirekita wa ICT mu poliisi ne Winston Katushabe, kaminsona avunaanyizibwa ku mateeka g’ebidduka nga beetegereza.
‘Lino ly’ekkolero erisinga mu East Africa okukola nnamba z’ebidduka’
Okuyingiza bannansi mu pulojekiti eno kutuuse ku bitundu 80 ku 100, nga kati ekkolero lino ly’ekkolero erisinga obunene mu buvanjuba bwa Africa, mu kukola ennamba z’ebidduka.
Ababaka n’abakungu abalala nga babannyonnyola ku nnamba za mmotoka eza digito.
Emirimu egiri ku kkolero ly’ennamba zino, n’engeri Poliisi gy’ekozesa pulojekiti eno mu by’obutebenkevu, waliwo enkyukakyuka ekwatwako mu buweereza eri bannannyini bidduka, n’okuyambako mu byokwerinda. Ababaka era baakitegedde nti ennamba ezaali zibanjibwa abantu, zaabaweebwa dda, okwewandiisa n’okufuna ennamba eno kwongedde okugonda, ate ne poliisi yeeyambisa tekinologiya ono okulondoola mmotoka eziba zibbiddwa. Okulambula kuno era kwavuddemu okuwabulwa ku ngeri pulojekiti eno gy’eyinz okwongerwamu amaanyi. Kati essira ligenze ku kunyweza nkwatagana n’enkolagana wakati
w’ebitongole ebiri mu nsonga eno, okulongoosa mu mitendera gya poliisi gy’eyitamu mu bikwekweto byayo, n’okutereeza empuliziganya wakati wa bannannyini bidduka n’abakwatibwako abalala. Okusinziira ku dayirekita w’ebyatekinologiya mu Poliisi AIGP Felix Baryamwisaki, ku mmotoka 375 ezibbiddwa, basobodde okulondoola n’okununula mmotoka 337, nga kino kikola ebitundu 90 ku 100.