ABANTU babiri abagambibwa okusikambulira amasimu g'abasaabaze n'abasuubuzi ku bitaala by'e Lugogo e Nakawa mu Kampala, bakwatiddwa.
Hassan Nyanzi ne Jonathan Kato be bakwatiddwa n'essimu ezigambibwa okuba enzibe 7 nga baziterese mu mmotoka ekika kya Wish nnamba UBH 945 R .
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti omu ku babbiddwako essimu ng'ali n'abaserikale , bagirondodde ne bagizuula mu mmotoka eno evugibwa Kato , nga kigambibwa nti ababbi mwe baazikung’aanyiza nga bamaze okubba mu jjaamu.