Bya Zulaika Iqra Nakato
ABANTU abaafuna Ssente akakadde akamu mu Pulogulaamu ya PDM baweereddwa amagezi okwettanira emisomo egikwata ku nzirukanya ya Business kibanguyize okwekulaakulanya.
Amagezi gano abantu abaafuna Ssente za PDM,gabaweereddwa akulira Uganda Development Edward Katende ng'ono asinzidde mu kwogerako mwoleso gw'eby'obulimi ogw'omulundi ogwa 32 2026 ogubadde e Jinja.

Edward Katende Executive Director wa Uganda Development Forum ng'annyonnyola
Mu mwoleso guno abantu abaafuna Ssente za PDM,baayolesezza ebintu ebyenjawulo byebakola omubadde abalimi,abalunzi n'abalala abakugu okusobola okubasasula.
Katende agambye nti kinakuwaza okuba nti abamu ku bantu abafuna akakadde ka PDM bakazza mu kugula ebintu ebitagasa olwo ssente ne zibafaako n'ategeeza nti kikulu nnyo abantu okuyayanira okusoma ku bikwatagana n'enkwata ya Ssente.
Ono agambye nti omuntu asomeseddwa ku nkwata ya Ssente asobola bulungi okweyambisa akakadde ka PDM okukyusa obulamu bwe ko n'abo mu maka ge.

Abantu nga bali mu musomo
Ono yayogedde ku kwongera omutindo ku bintu abantu byebakola n'ategeeza nti
okwongerako omutindo kwe kusobola okuyamba abantu okwongeza ku nnyingiza yaabwe.
Mu ngeri y'emu n'ab'ekitongole ky'Amakomera ekya Uganda Prisons Services ekikidwa Generous Betunga Behabura superintendent of livestock and Entomology baayolesezza ebintu eby'enjawulo byebakola omwabadde n'ensigo za Kasooli ow'Embala ne bakuutira abalimi okwongera okussa essira ku nsonga y'omutindo.