ABAAWAMBA Suzan Magara baakozesa mmundu enjingirire okumutiisatiisa okumutta
olwo ne bamussa mu mmotoka okumutwala gye baagala.
Nga February 7, 2018 lwe baawamba Magara ku kkubo eridda ewuwe mu Ssendawula Zooni e Lungujja, baalina emmundu ekika kya pisito bbiri enkolerere ze bamutunuzaamu olwo n'ajjula okutya ng’akola kye baagala.
Mbega wa poliisi eyakola okunoonyereza ku fayiro enoD/AIP Desire K. Wandera yagambye nti, mu kunoonyereza engeri abawawaabirwa omwenda n’abalala abadduka, gye baawamba Magara, Yusuf Lubega omu ku bawawaabirwa yamutegeeza nti, baakozesa basitoola enjingirire ezitera okuzannyisibwa abaana nga zino ze baatunuza mu Magara n’atya olwo ne bamuggya mu mmotoka ye ne bamussa mu yaabwe.
Wandera, ye mujulizi w’oludda oluwaabi owa 37 era yaleese ebiwandiiko kwe yawandiika
ebizibiti byonna bye baazuula n’abawawaabirwa okuli emmotoka ez’enjawulo ze baakozesa mu misoni ssaako ze baagula nga bamaze okufuna obukadde 700 ku
bazadde ba Suzan. Omusango guli mu maaso g'omulamuzi Alex Mackay Ajiiji owa Kkooti Enkulu mu Kampala