Abaatemula Susan Magara baakozesa layini z’essimu 17

ABATTA Suzan Magara baasazisa layini z’essimu 17 nga teziwandiisiddwa kwe baalukira ddiiru okumuwamba okutuusa lwe baamutta.

Abamu ku bawawaabirwa mu kaduukulu ka kkooti enkulu gye bavunaanibwa okutta Suzan Magara (waggulu) mu kafaananyi akalaga bwe baasooka okumutemako engalo bbiri nga bamuwambye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATTA Suzan Magara baasazisa layini z’essimu 17 nga teziwandiisiddwa kwe baalukira ddiiru okumuwamba okutuusa lwe baamutta.
Omukugu mu kwekebejja eby’oku mutimbagano n’ebyempuliziganya, Enock Kinene
ng’akola n’ekitongole kya poliisi ekya Cyber Crimes Unit y’omu ku bajulizi abaaleeteteddwa mu kkooti ku musango guno, n’ategeeza kkooti bye yazuula mu kwekenneenya ebyempuliziganya ku nnamba z’amasimu za bazadde ba Suzan n’abagambibwa okuwamba n’okutta omugenzi.
Kinene ye mujulizi ow’e 18. Yagambye nti wakati wa February 7 ne February 24 2018, John Magara (taata), Immaculate Magara (maama) ne Flora Magara (ssenga) nga
be bazadde ba Suzan Magara, baafuna amasimu ag’enjawulo nga babategeeza nga bwe balina muwala waabwe.
Okusinziira ku kunoonyereza kwa Kinene, abaawamba Suzan baakozesa layini za ssimu 17 nga zaali tezaawandiisibwa mu kkampuni z’amasimu era abaazikozesa baali baazifuna mu bukyamu.
Kinene yagambye nti ennamba ezaali zitamanyiddwa zaali ziwuliziganya n’abaali bawambye Suzan Magara ate nga bakubira abazadde b’omugenzi nga bwe babawa
ebiragiro kwe baali bakolera.
Nnamba ezo zaawuliziganyanga n’endala ezaali zaawandiisibwa mu mannya aga Mahad Kisaliita, Hakim Lugolobi, Yakoub Byensi, Yusuf Lubega, Ssali Muzamir, Hassan Kato, Isma Bukenya ne Hussein Wasswa, nga beekubira ssimu emirundi egiwerako nga basinziira e Konge, Makindye n’ebitundu ebyetoolodde Kampala.
Suzan Magara 28, yali mubazi wa bitabo ku Bwendero Farm e Mengo. Yawambibwa bwe yali atuuka mu maka ge e Lungujja nga February 7, 2018 oluvannyuma omulambo gwe ne gusuulibwa e Mutungo - Kitiko nga February 24, 2018. Abatemu baasooka kufuna obukadde 700 wadde nga baali basabye ezisoba mu kawumbi okuva ku bazadde b’omugenzi.