Amawulire

Abaasenga ku ttaka lya leerwe basula ku tebuukye : basattira!

ABANTU abaasenga okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bakukkulumidde Gavumenti olw’ebikwekweto ebyatandikiddwa okubamenya.

Abaasenga ku ttaka lya leerwe basula ku tebuukye : basattira!
By: Ponsiano Nsimbi , Tonny Nsoona , Kizito Dennison Noor Namagembe ne Edward Luyimbaazi, Journalist @New Vision

ABANTU abaasenga okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bakukkulumidde Gavumenti olw’ebikwekweto ebyatandikiddwa okubamenya.

 

Kiddiridde ab’ekitongole kya Uganda Railways Corporation (URC) okutandika ebikwekweto by’okumenya n’okusengula abantu abeesenza mu bibangirizi by’oluguudo lw’eggali y’omukka ebyalese abatuuze abawerako nga balajaana.

 

E JINJA BASULA KU TEBUUKYE
Abaasenga okuliraana oluguudo lw’eggaali e Jinja basula ku tebuukye nga beekengera okumenya amayumba gaabwe.

 

Abatuuze ku byalo okuli; Mbiri, Mafubira, Namulesa, Wakitaka n’ebirala bagamba nti, balina ebyapa ku ttaka lino naye baabalaalise okubagobako.

 

Edward Grace Nsekeire, omutuuze w’e Wakitaka mu Northern Divizoni mu kibuga Jinja, yategeezezza nti, ali ku ttaka lya jjajjaawe, era balina n’ekyapa kyokka gye buvuddeko baabategeeza nga bwe bali ku ttaka ly’eggaali y’omukka era nga balina okulyamuka.

E MITYANA
Ssentebe wa Busimbiri division mu Mityana munisipaali, Hajji Haruna Kibirige yagambye nti, wadde enteekateeka eno egenda kukosa abantu abamu naye akkiriziganya n’enteekateeka egenda mu maaso n’agamba nti, abamu baasenga ku ttaka ly’eggaali y’omukka nga bamanyi nti, si lyabwe.

 

LUGAZI
Ssentebe wa Kibubbu A mu ggombolola y’e Kawolo mu munisipaali y’e Lugazi, Haruna Shaban Kalema agamba nti, abantu abasinga mu kitundu kino bakimanyi bulungi nti, ettaka lye baliko lya kitongole kya ggaali ya mukka era bazze balabulwa.

 

Kyokka Kalema agamba nti, enteekateeka y’abantu okwesengula bokka yali etandise naye abatuuze bwe baalaba nga tewali kigenda mu maaso ne basalawo okuddamu okukolera mu bifo bye baali bavuddemu.

 

NAKAWA
Ali Kiberu, omutuuze w’e Mbuya mu munisipaali y’e Nakawa agamba nti, ekitongole ky’eggaali y’omukka kiri mu kusengula bantu awatali kusooka kubaliyirira.

 

Yagambye nti, balina omusango gwe baawaaba ogukwata ku batuuze b’e Mbuya, Banda ne Kataza gwe baawaabira KCCA nga waliwo ekiragiro kya kkooti ekiragira ebitongole bino obutabaako kye bakola bantu bali mu bitundu ebyo okutuusa ng’omusango gumaze okusalibwa.

KYENGERA - NABAZIZA
Joseph Luyimbaazi, omu ku baakoseddwa mu kitundu kino agamba nti, gye buvuddeko ab’ekitongole ky’eggaali y’omukka baabalirira era ne basuubiza okubaliyirira kyokka ekyabatuuseeko kyabakanze nnyo.

 

Ronald Muganga, yeewuunyizza engeri ebikwekweto gye byavudde ku birambikiddwa mu mateeka ne batuuka n’okumenya amayumba g’abantu agaali ebweru wa mmita ezibadde zimanyiddwa ne badda ku mmita 60.

 

Ssentebe wa Nabaziza Cell, Amuli Wagaba yategeezezza nti, mu 2017 abatuuze beekubira enduulu mu kkooti era ne bafuna ekiwandiiko ekiyimiriza okubasengula kyokka beewuunyizza okulaba nga bakomyewo ne babasengula.

 

Omwogezi w’ekitongole kya URC, Linnon Ssengendo yagambye nti, ebikwekweto bigenda kuyita mu disitulikiti y’e Tororo, Gulu, Pakwach, Busoga, Namasagali, Masindi, Kampala-Kasese eyita mu disitulikiti nga Mityana, Mubende n’endala.

 

Yagambye nti, tewali muntu ali mu bitundu ebyo agenda kuliyirirwa ssente yonna okuggyako abasangibwa ku luguudo lwa Kampala-Malaba, Old Port Bell Road, Ndeeba Nateete, Nalukolongo, n’ebirala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Ttaka
Leerwe
Kusenga
Amawulire