'Abaana temubatwala mu byawongo mbu bayite ebibuuzo'

ATWALA ekkanisa z'Abalokole mu Greater Mukono era Omusumba w’Ekkanisa ya Mt. Lebanon Christian Center Catherdal -Mukono, Paasita Samuel Lwandasa alabudde abazadde  obutatwala baana mu byawongo nga baagala bayite ebigezo n’agamba nti kikyamu!

'Abaana temubatwala mu byawongo mbu bayite ebibuuzo'
By Eric Yiga
Journalists @New Vision
#Amawulire

Abawadde amagezi okwekwata ku Bayibuli n’abawa ekyawandiikibwa mu Engero 1:7 ekigamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.

Ono era asabye abayizi abagenda okutuula ebigezo by’ekyomusanvu okukozesa obwongo Mukama bw’abawadde okutandikawo emirimu baleme okwekugira mu kifo kimu.

Abazadde nga basabira abaana baabwe.

Abazadde nga basabira abaana baabwe.

Bino abyogerede ku ssomero lya Golden Embassy Nursery  Day and Boarding Primary School Kitega Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe bw’abadde asabira abayizi abagenda okutuula ebigezo by’ekyomusanvu.

Asiimye abazadde olw’okwerekereza mu mbeera y’ebyefuna eno ekalubye ne basomesa abaana b’eggwanga.

Mu ngeri y’emu akuutidde abazadde okukomya eng’ombo ya ‘tunoonya ssente’ wabula babeerewo n'ebintu bye batandikawo mu bifo we bali kibayambe okufuna ensimbi.

Omusumba Lwandasa ng'akwasa  Bernard Kisulo ebintu.

Omusumba Lwandasa ng'akwasa Bernard Kisulo ebintu.

Era asiimye abasomesa olw’eddimu eddene lye bakola okusitula embeera y’abantu yadde nga bangi ku bo bakolera mu mbeera enyigiriza nga bafuna kye batasaanidde kufuna.

Bernard Kisulo nga ye mutandisi w’essomero lino asabye abayizi bano okubeera abagumu n'obutatya bibuuzo wabula beesige Mukama. Abayizi 93 be bagenda okutuula ebigezo mu ssomero lino.