Aba United Forces of Change basisinkanye bannaddiini

23rd January 2024

EBIBIINA kya United Forces of Change ekyatandikiddwaawo Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) n’ekiwayi kya FDC ekya Besigye ne Lukwago nga bali wamu n’ebibiina ebirala basisinkanye bannaddiini ne boogera ku butakkaanya bwe babadde nabwo.

Aba United Forces of Change basisinkanye bannaddiini
NewVision Reporter
@NewVision
#Fred Nyanzi Ssentamu #FDC #NUP #ANT #Dr. Kiiza Besigye #Lewis Rubongoya #Winnie Kiiza #Wafula Ogutu #Jolly Mugisha
46 views

EBIBIINA kya United Forces of Change ekyatandikiddwaawo Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) n’ekiwayi kya FDC ekya Besigye ne Lukwago nga bali wamu n’ebibiina ebirala basisinkanye bannaddiini ne boogera ku butakkaanya bwe babadde nabwo.

Ensisinkano yabadde ku kitebe ky’ekibiina ekigatta enzikiriza ekya Inter Religius Council e Mengo nga baamaze essaawa bbiri nnamba mu kafubo akatakkiriziddwaamu bannamawulire.

Bannaddiini baakulembeddwaamu ssentebe waabwe era Ssaabalabirizi Stephen Kazimba Mugalu ng’ali wamu ne Dr. Joseph Sserwadda, Joshua Lwere, Rev. Kisitu ow’Abasodokisi n’abalala.

Oludda lwa bannabyabufuzi lwakulembeddwa akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Joel Ssenyonyi, Ssaabawandiisi wa NUP Lewis Rubongoya, Winnie Kiiza owa ANT, John Baptist Nambeshe, Fred Nyanzi Ssentamu, Wafula Ogutu owa FDC, Jolly Mugisha omumyuka wa ssentebe wa NUP e Bugwanjuba ne Lina Zedriga amyuka ssentebe wa NUP mu bukiikakkono.

Ssenyonyi yategeezezza nti basazeewo basisinkane bannaddiini okubaloopera embeera gye bayitamu ng’abali ku ludda oluwabula gavumeti nga n’essaawa ya leero bakulembeze bannaabwe okuli; Robert Kyagulanyi Ssentamu, Dr. Kiiza Besigye ne Loodi Mmeeya Ssaalongo Erias Lukwano baasibirwa mu maka gaabwe.

Yanenyezza bannaddiini olw’okusirika nga waliwo ensonga ezinyiga bannansi.

Ssaabalabirizi Kazimba yategeezezza bannabyabufuzi nga bannaddiini bwe bataliiko ludda lwe bawagira era nga y’ensonga lwaki baabasisinkanye nga tewali abakugira.
Yagambye nti ekyabalemesa okwetaba mu kusaba okwali e Makerere - Kavule kyava mu kufuna bbaluwa ebayita ng’obudde bugenze n’abasaba bulijjo okuyita mu makubo amatuufu.

Dr. Sserwadda yayogedde ku kya bannankyukakyuka abali mu makomera yategeezezza nti bagenda kuddamu batuule ne bannabyabufuzi baddemu boogere era baveeyo n’eddoboozi erya wamu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.