Ssaabasumba asibidde Nyanzi ne mukyala we Majorine entanda oluvannyuma lw'okugattibwa

Apr 27, 2024

LUTIKKO y’e Lubaga etimbiddwa ebimyufunga Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akulembeddemu banne ku ludda oluvuganya Gavumenti okubeerawo ng’abajulizi nga ssaabakunzi w’ekibiina era mukulu we, Fred Nyanzi Ssentamu Chairman agattibwa ne mukyala we, Marjorine Nyanzi.   

Nyanzi n’omukyala nga bakuba ebirayiro mu maaso ga Ssaabasumba Ssemogerere.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

LUTIKKO y’e Lubaga etimbiddwa ebimyufunga Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akulembeddemu banne ku ludda oluvuganya Gavumenti okubeerawo ng’abajulizi nga ssaabakunzi w’ekibiina era mukulu we, Fred Nyanzi Ssentamu Chairman agattibwa ne mukyala we, Marjorine Nyanzi.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu Paul Ssemogerere ye yabagasse ku Lwokutaano mu
lutikko eyabadde ekubyeko bannabyabufuzi okuva ku ludda oluvuganya gavumenti, ababaka ba palamenti, bassentebe ba disitulikiti n’abalala.

Ssemogerere yababuulidde nti ebyobufuzi kirabo okuva ewa Katonda ekiteekeddwa okutwalibwa nga kikulu eri abaagalana ababiri kati abafuuse omuntu omu.

Yabagambye nti obufumbo buyimiriddewo ku mpagi ya kusaba buli kiseera n’okwagalana ssaako. “Ebyobufuzi tebibamalaawo mufune obudde okuwuliziganya n’okukuza obulungi abaana nga bazadde bammwe bwe baabakuza okusobola okuvaamu abantu abalungi eri eggwanga” Ssemogerere bwe yababuuliridde.

Abagole baayingiridde mu maanyi mu Lutikko nga bakulembeddwa bbandi n’okubasimbira ennyiriri ezaakoleddwa abavubuka ba NUP. Ebibinja by’abavubuka byabadde byambadde ovulo emmyuufu nga bisimbye ennyiriri.

Ebyokwerinda ku Lutikko byabadde binywezeddwa nga poliisi yasoose kutwalayo mbwa ne ziwunyiriza oluvannyuma abaserikale ne bayiibwa mu kifo kyonna okwebulungululaLutikko. Robert Kyagulanyi Ssentamu yeebazizza Lutikko okusabira abaagalana n’okubagatta era n’asaba abantu okussa ekitibwa mu bufumbo nga babukuuma nga Ssaabasumba bw’abuulidde.
Oluvannyuma lw’okugattibwa abagole baasembezza abagenyi baabwe kuFreedom City. Nnyanzi ne mukazi we babadde bamaze emyaka 25 nga tebagattibwanga.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});