Abantu 9 baagala kusikira Nsereko mu Kampala

OLUVANNYUMA lwa Muhammad Nsereko okulangirira bw'atakomawo ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central, abantu 9 beesowoddeyo okumusikira.

Nsereko
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OLUVANNYUMA lwa Muhammad Nsereko okulangirira bw'atakomawo ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central, abantu 9 beesowoddeyo okumusikira.
Nsereko, abadde omubaka ebisanja 3 okuva mu 2011, yategeezezza  Bukedde nga bw’atakomawo mu 2026. “Sikomawo ku bubaka bwa Kampala Central. Ekirala sigenda kuvuganya ku Bwaloodi Meeya,” Nsereko bwe yagambye. Nsereko yafuna akaseera
akazibu mu kulonda okwasembayo bwe yattunka ne ‘Chairman’ Fred Nyanzi era nga bw’atuukaokukya enkeera ng'omuwanguzi abuusibwabuusibwa. Nsereko
yalangirirwa ku buwanguzi,
Nyanzi n'agenda mu kkooti, kyokka nayo ne bamuwangulirayo. Okuvaawo kwa Nsereko kuleese olutalo kakuuse wakati w’ekibiin  ya NUP ne NRM nga buli ludda lugamba ensolo ku kizigo kw’eri.
Minsa

Abaagala okuvuganya

Abaagala okuvuganya

KABANDA, CEDRIC BABU NE SUSAN KUSHABA BALWANIRA KAADI
Ssentebe wa NRM mu Kampala Central, Salim Uhuru yategeezezza Bukedde nti baakola okunoonyereza mu miruka gyonna ne bakizuula nga Kabanda y’asinga obusobozi. Yagasseeko nti wabula oluggi luggule eri abeegwanyiza ekifo.
MINSA KABANDA
Ye Minisita wa Kampala, yagambye nti ali nnyo mu lwokaano kuba alina by’akoledde ekitundu ng’ayita  mu kibiina kya Kabanda Foundation. Yeenyumiriza mu kugatta  abantu nga tasosola mu mawanga na ddiini era akendeezezza entalo mu bakulembeze.
Abavubuka ba Ghetto abakozeemu omulimu ne batandika okwekulaakulanya era gye buvuddeko Pulezidenti Museveni yabawa akawumbi kalamba n’obukadde
200. Abaana abasakidde bbasale, abalala abawa ebitabo, abavubuka abategekedde emisomo egibabangula, kw'agasse n’okutereeza obukulembeze bw’obutale.
“Nkulidde mu kibuga, nkikoleddemu, nkitaddemu enkulaakulana y’eddwaaliro mu Kisenyi, nnaliko kkansala ku KCCA ne Central Divizoni, nakulirako ekisaawe ky'e
Nakivubo,” Kabanda bw’agamba. CEDRIC BABU Cedric Babu, mutabani wa Francis Babu eyaliko omubaka wa Kampala Central. Ye mukwanaganya w’ekisinde kya PLU ekikulemberwa Gen. Muhoozi Kainerugaba. “Ensonga ezandeeta mu 2021 zikyaliwo era olwokaano lwa 2026 ng’enda kulubeeramu ku kaadi ya NRM” Babu bw’agamba. Yavuganya ku kifo kino mu 2021 ku kaadiya NRM n’afuna obululu 10,749.
Nsereko eyawangula yafuna 16,998, Fred Nyanzi Ssentamu (15,975)  n’abalala.
KUSHABA
Agamba nti ekimuleese kulwanirira basuubuzi n’omuntu wa wansi anyigirizibwa mu kibuga. “We nnabeerera mu Owino, nayamba abanaku okufuna emidaala okuva ku bagagga abaali bagyefuze. Natumbula ebyemizannyo nga ntegeka empaka awamu n’okutumbula ebitone by’okuyimba nga nkolagana ne Bebe Cool. Nga nkolagana
 ne dayirekita wa KCCA, Dorothy Kisaka twasakira akatale ka Owin amataala ag’amaanyi g’enjuba era gakyaliwo. Njagala kubbulula mbeera z’abantu kuba abasinga
ebyabwe bikoma mu bigambo,” bwagamba.
CHARLES NAMBAVU
Nambavu musuubuzi mu kibuga Kampala nga naye wa NRM. Agamba nti ayagala okutumbula embeera z’abasuubuzi, abattakisi, abakolera ku nguudo n’okutereeza
obuweereza bwa KCCA. “Njagala kulaba ebyobulamu nga bitumbulwa ng’abantu bafuna amazzi amayonjo, amateeka amabi aganyigiriza Bannakampala n’okutereeza
embeera z’abantu ba Ghetto,” Nambavu bw’agamba. NUP ereeta Rubongoya Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yakakasizza Bukedde bw'agenda okwesimba ku kifo kino mu 2026 atuuse obuweereza mu bantu. Yagambye nti waakujjira ku kaadi ya NUP kuba kye kibiina ekiriwo ku lw’abantu era ekirumirirwa omuntu waabulijjo gw'ayagala okulwanirira.
MOS ES KATAA BU
Mu kiseera kino kkansala ku  lukiiko lwa KCCA ng’akiikirira Kampala Central ng’ayagala kaadi ya NUP. Abadde mukulembeze okuva ku kyalo ku Lubaga Road, asomedde mu Kisenyi, yaliko kansala ku Central Divizoni. Alina okumatiza NUP okumuwa kaadi.
FAROUK MINAAWA
Ye ssentebe wa FDC mu Kampala era kye kibiina mw'ajjira. Agamba ebbanga ddene abadde atambula ne Loodi Meeya ekimuyambye okumanya ebizibu by’ekibuga kyokka ye yasigalayo ku kitebe e Najjanankumbi. Ayagala kutereeza mulimu gwa ttakisi n’abasuubuzi. Mu balala mwe muli Brian Lukumbuka owa DP ne Abraham Luzzi.
EBYA FAAYO BYA KAMPALA CENTRAL
Wasswa Ziritwawula ye yaliomubaka w’ekitundu mu lukiiko lwa NRC, kyokka n’alekulira mu 1991 ng’awakanya ekya Gavumenti okulemera obuyinza n’eva ku kye yali esuubizza okubuzza mu bantu. Capt. Francis Babu ye yakiikirira ekitundu mu  ukiiko olwakola ssemateeka wa 1995. Babu yaddamu n’awangula mu 1996 ne 2001.  rias Lukwago ye yasiguukulula Babu mu 2006 kyokka n’akulembera ekisanja kimu, n’avuganya ku Bwaloodi Meeya mu 2011. Nsereko yayingirawo mu 2011 ku kaadi ya NRM era akulembedde ebisanja bisatu, kyokka ng’ebibiri ebisembyeyo abadde talina kibiin