Aba Uganda Wild Life education Conservation Centre bataddewo ebibiina  eby'okukuuma n'okulondoola eby'obulambuzi

Aba Uganda Wild Life education Conservation Centre (UWEC) beeyamye okussa amaanyi mu bibiina ebirabirira n'okukuuma eby'ebulambuzi bisobole okutambuza obulungi emirimu gyabyo  

Akulira UWEC David Musingo ng'atongoza ebibiina by'okukuuma eby'obulambuzi
By Godfrey Ssempijja
Journalists @New Vision

Aba Uganda Wild Life education Conservation Centre (UWEC) beeyamye okussa amaanyi mu bibiina ebirabirira n'okukuuma eby'ebulambuzi bisobole okutambuza obulungi emirimu gyabyo.

Bino byogeddwa David Musingo akulira Uganda Wild Life education Conservation Centre (UWEC) ng'abadde ekiikiridde akulira ekitongole kye by'obulambuzi UWA ku mukolo gw'okutongoza ebibiina bino e Ntebe..
.
Mukutongoza  ebibiina bino basobode okulaga enteekateeka yebibiina bino egenda okugobererwa mu myaka 5  emanyidwa nga Stragic Plan 2025-2030 okubayamba okukuuma n'okusomesa,kwosa n'okulabirira obutonde bwensi .

David Musingo ng'annyonnyola

David Musingo ng'annyonnyola

 David Musingo agambye nti ebibiina bino  byakuyamba okulwanyisa abantu abatema emitti , abatta ebisolo , okwonoona obutonde  ne birala ebintu ebitali birungi n'olwekyo ebibiina bino ebya Wild Life Clubs byakuyamba nnyo okulwanyisa ebikolwa bino .

Dr Tadeo Rusoke omu kubalwanirizi b'obutonde agambye nti olukungaana luno lugenderedwaamu okwongera okubangula abasomesa ku by'obutonde wamu n'okubawa obukodyo bwebayinza okukozesa okusomesa abalala ku bikwata ku kuuma obutonde bwensi awamu n'ensolo z'omunsiko.

Joanita Nabwire omu ku basomesa ku butonde  ategeezeeza nti mu bimu ku bisuubirwa okutuukiibwako kye kya UWA okuggulawo amakuumiro ge bisolo agenjawuulo mu bitundu bye ggwange nga kino kyakuyamba abasomesa wamu n'abazadde okutaasa ebizibu ebiri mu kutambulza abayizi engendo empaavu okulaba ebisolo bino olumu ekiviirako obubenje eli abayizi bano . .

Mukaweefube w'okukuuma , okulabirira n'okusomesa abaana abato ku birungi ebiri mu kukuuma obutonde n'okulabirira ebisolo , Wildlife Clubs Of Uganda yatandikibwawo mu mwaka gwa 1975