POLIISI ye Matugga etaayizza ababbi ababadde babbye embuzi nga bano bazisazeeko emitwe nga bazippakidde mu buveera era bano batwaliddwa ku poliisi ye Matugga ne mbuzi mukaaga nga bamaze okuzitta.
Abakwatiddwa kuliko Steven Kaboneka 42 nga mutuuze we Maganjo ne Sulayiman Kalyango nga bano babadde babbye embuzi mu bitundu bye Kavule nga bazitwala Kampala okuzitunda wabula nga embuzi zino bazisazeeko emitwe nga bazipakidde mu buveera nga kibadde kizibu okutegeera kiki ekiri mu buveera.
Dereva we mmotoka omubadde ababbi bano nnamba UBD 862E, Shafic Sewankambo agambye nti ku saawa zibadde kkumi neemu nga atwala abantu nebamuyimilizza e Kavule ku luguudo lwe Semuto okubatwalako nga balina ebitereke kyokka ababadde bakalinya poliisi nebayimilizza nga naye yebuuza kiki kyabadde akoze..
Abkwatiddwa
Bano bwebatuuse ku poliisi ne batandika okubaaza okwetegerezza nga ababbi bano babadde ne mbuzi enzibe era abavubuuka bano bagambye nti waliwo munaabwe ayitibwa Ashraf eyabazigiridde omulimu guno
Abatuuze nga bakulembeddwamu Kijjambu Paul bakunganidde ku poliisi okulaba ababbi bano kyokka nebagamba nti ababbi bano babalemesezza nnyo okulunda nga naye ente ze bazibba.
Ye John Mulinda agambye nti abasajja bano bazze nga basala ebisolo by’abatuuze era nga bazze babawondera nga ekisinga okwewuunyisa ne mbuzi ento baleka bazibbye