Amawulire

Aba Uganda Olympic committee bakwataganye ne Rugby Union okulwanyisa ebikolobero ebituusubwa ku baana ab'obuwala

Aba Uganda Olympic committee bakwataganye ne Rugby Union okulwanyisa ebikolobero ebituusubwa ku baana ab'obuwala

Aba olympic committee ne Rugby union oluvannyuma lw'okutta omukago
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

AKAKIIKO k'ebyemizannyo aka Uganda Olympic committee kakwataganye n'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby mu ggwanga okulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku baana abobuwala nga bayita mu byemizannyo.
Kaweefube ono eyatuumiddwa ‘girls against GDV’ waakumala emyaka esatu nga abunyisibwa mu masomero agenjawulo nga baakutandikira mu district ye Wakiso.
Amasomero agasoba mu 50 gegagenda okwetaba mu kaweefube ono agendereddwamu okutuuka ku baana abobuwala nabalenzi abali wansi wemyaka 12-18 abawerera ddala omutwalo gumu.   
Mu kaweefube ono abawala baakuweebwa obukodyo nokuwabulwa ku ngeri gyebasobola okwetasaamu singa beesanga mu mbeera ebatyoboola olwobutonde bwabwe.kaweefube ono waakutandika nolusisira lwokubangulwa nga lwakumala ennaku ssatu omuli abakugu mu nsonga zeddembe lyobuntu, nga abasinga bajja kubeera bakyala.

Aba olympic committee ne Rugby union oluvannyuma lw'okutta omukago

Aba olympic committee ne Rugby union oluvannyuma lw'okutta omukago


Bino webijidde nga omuwendo gw'abakyala n'abaana abobuwala abafiira mu butabanguko mu maka beeyongedde nga gyebuvuddeko waliwo munnayuganda omuddusi Rebecca cheptegei eyattibwa bba oluvannyuma lwokufuna obutakaanya.
Moses mwase amyuka president wa Uganda Olympic committee ategezezza nti kaweefube ono nakakiiko ka Olympic committee akensi yonna kagimanyiiko nga kati baagala kugatta ddoboozi lyabwe eri kaweefube ono.
enteekateeka eno egenda kuwomebwamu omutwe aba swans sports Uganda abagenda okutambuza kaweefube ono ku lwa Uganda Olympic committee ne Uganda rugby union.
Isaac lutwama Nsubuga akiikiridde Uganda rugby union yakaksizza nga omutawaana gwobutabanguko bweguli ogwamanaayi kyokka nga bagumu nti singa batandikira mu baana abaton ga bababangula kijja kutangaaza ebiseera byabwe ebyomumaaso
Tags: