Aba Lotale ya Bweyogerere - Namboole batongozza okuzimba ettendekero ly'ebyemikono

BANNALOTALE abeegattira mu Rotary Club ya Bweyogerere-Namboole batongozza omulimo gw'okuzimba ettendekero ly'eby'emikono ng'emu ku ngeri y'okukwasizaako gavumenti okulwanyisa obwava ko n'ebbula ly'emirimo eryeyongedde mu bavubuka ensangi zino.

Mu Kitengi ye Gavana wa Rotary mu Uganda ne Kenya Mike Ssebalu n'abamu ku Bannarotary abaawaddeyo enimbi okuddukirira emirimo gya Rotary ku mukolo aba Rotary Club ya Bweyogerere Namboole kwebaatongole
By James Magala
Journalists @New Vision
BANNALOTALE abeegattira mu Rotary Club ya Bweyogerere-Namboole batongozza omulimo gw'okuzimba ettendekero ly'eby'emikono ng'emu ku ngeri y'okukwasizaako gavumenti okulwanyisa obwava ko n'ebbula ly'emirimo eryeyongedde mu bavubuka ensangi zino.
 
Entekateeka eno ey'okuzimba ettendekero ly'ebimikono erisuubirwa okuwemmenta ensimbi ezisoba mu Kawumbi kalamba,etongozeddwa Gavava wa Rotary mu Uganda ne Kenya Mike Ssebalu ku mukolo aba Rotary Club ya Bweyogerere-Namboole,kwebajagulizza emyaka 28 bukyanga Rotary Club eno etangikibwako ku mukolo ogwabadde e Kira mu kifo wennyini awazimbibwa ettendekero lino.
 
Gavana Mike Ssebalu,asiimye Ssabasajja Kabaka olw'okuwaayo ettaka yiika emu n'ekitundu okugenda okuzimbibwa ettendekero lino erigenda okubangula abavubuka mu mirimo gy'omutwe omuli;Okutunga,okubajja okusiba enviiiri,kukanika n'ebirala nga emu ku ngeri ey'okukendeeza ebbula ly'emirimo mu bavubuka nga wano alaze obwennyamivu olw'abavubuka abetundako ettaka lyabwe okugenda mu bibuga okuvuga Bodaboda.
 
Mu ngeri y'emu Ssebalu, asabye Bannarotary yonna gye bali okuwagira omulimo gw'okuzimba ettendekero lino n'ategeeza nti singa linaaba limaririziddwa, lyakuyamba nnyo abavubuka okufuna obukugu okusobola okwetandikirawo emirimo okusinga okuddukira ku kye nga yalabudde n'abatuuze b'e Kira obutagezaako kubba bintu ebiguliddwa okuzimba ettendekero lino kubanga Lizze kuyamba baana baabwe.
 
Ku mukolo Bannalotale ab'enjawulo, bawaddeyo ensimbi okwongera okudduukirira emirimo gya Rotary mu nsi yonna nga wano aba famire  y'omugenzi Jane Nalweyiso Muwanga nga bakulembeddwamu muwala we Immaculate Muwanga,bawaddeyo ddoola 1000 olw'okujjukira Maama emirimo emirungi gyeyakola nga wano Gavana wa Rotary Mike Ssebalu amuwadde ekitiibwa eky'enjawulo n'amusiima olw'okukuza obulungi abaana.
 
Bo abaaliko ba Pulezidenti ba Rotary Club ya Bweyogerere-Namboole nga bakulembeddwamu,eyaliko Meeya w'e Kira Mamerito Mugwerwa beyamye okwongera okuwagira omulimo gw'okusonda ensimbi ez'okuzimba Ettendekero lino okulabanga abavubuka babangulwa mu by'emikono.
 
Ye Pulezidenti wa Rotary Club ya Bweyogerere-Namboole,George Okol,asiimye Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II,olw'okusiima n'abawa yiika y'e Ttaka emu n'ekitundu we batandise okuzimba ettendekero lino erigenda okuyamba abavubuka nga wano yasabye Bannarotary okubeera obumu okusobola okukola omulimo guno mu budde.