Aba Janan School e Luwero bajjukidde Ssaabalabirizi Janan Luwum

ABAKULEMBERA essomero lya Janan SS mu Luweero bategese okusaba kw'okujjukira omugenzi Ssabalabirizi Janan Luwum wakati mu kusaba bannaddiini obutatya kwogera kunsonga zinyigiriza bantu ba bulijjo ne bannabyabufuzi okuwulirizanga abantu bye babagamba.

Aba Janan School e Luwero bajjukidde Ssaabalabirizi Janan Luwum
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision

ABAKULEMBERA essomero lya Janan SS mu Luweero bategese okusaba kw'okujjukira omugenzi Ssabalabirizi Janan Luwum wakati mu kusaba bannaddiini obutatya kwogera kunsonga zinyigiriza bantu ba bulijjo ne bannabyabufuzi okuwulirizanga abantu bye babagamba.

Jan 3

Jan 3

Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Dr George Sinnabulya y'akulembeddemu okusaba okwetabiddwaamua abayizi b'essomero lini n'abazadde n'agamba nti omugenzi Luwum yakola omulimu gw'obwesigwa okulwanirira eddembe n'amazima nga tatidde ng'abalala bwe bakola nekimufuula omuganzi n'asaba abalala bamulabireko .

Asiimye abakulira amasomero ga Janan okusalawo okulonda Ssabalabirizi Luwum ng'omuwolereza waabwe n'asaba abayizi okubeera ab'empisa, okukuuma ebiseera n'okutya Katonda lwe bajja okuwangula ensi.Dayirekita wa Janan Schools Mike Kironde asabye abazadde okubakwasizaaako mu kugunjla abaana ab'empisa n'abatya Katonda. Abayizi abaalebya bannabwe mu PLE ne UCE baaweereddwa ebirabo omuliokuweebwa basare okukomawo okusomera mu ssomero lino.