Aba Esseza Foundation badduukiridde omuwala eyafunira olubuto mu muggalo bba n'amupangisiza akazigo n'amala n'amuddukako

Ekibiina ekiyamba abalwadde ba Kkansa  ekya Esseza Foundation e Magere  Kasangati kiwadde omuwala wa P6 eyafunira olubuto mu muggalo ebintu ebikozesebwa oluvannyuma lwa  muganziwe okumuddukako  n'amuleka mu bbanga  .

Annie Katuregye, akulira Essaza Foundation ng'awaayo ebintu eri omuwala ne nnyina bibayambeko
By Sarah Zawedde
Journalists @New Vision

Rashidah Nanangwe (13)   yali asoma P6 mu Kireku P/S e Bweyogerere , omuvubuka gw'amanyiiko erya Rashid, kondakita wa takisi  namulimbalimba okumuwasa n’amubuzaawo ku bakaddebe namutwala mu kazigo e Bweyogerere  gye yamala naye emyezi ebiri nga mukozesa oluvannyuma namuddukako  nga ali lubuto

Annie Katuregye akulira ekibiina kino yagambye nti yabadde ku luguudo ng’asondera abaana abalala abalina ebizibu ebirala  obuyambi, n'alaba  Hijrah Namuyinda ng'ali ne muwala we Nanangwe ng'akaaba nti tebalina buyambi na ntambula ebatuusa ewa Bakuli kwe kubabudaabuda .

 

Yabafunidde entambula oluvannyuma yabafunudde n'ebikozesebwa mu kuzaala omuli engoye , essuuka z'abakulu n’abaana, omufaliso, bbulangiti .omuceere , obuwunga ,sukaali n'ebirala batandikireko bye yabakwasizza mu makaage .

Namuyinda nga ye maama wa Nanangwe yagambye nti amaze emyezi munaana  nga amunoonya tamulabako okutuusa omuntu gw'atamanyi bwe yamukubidde essimu wiiki eno ng’amugamba nti alindirire muwala we e Bukoto  .

Sarah Akampulira ng'annyonnyola

Yagambye nti yagenze okumutuukako nga yenna alabika bubi  ali mu kateeteeyi akamutippye n'amutegeeza nga bw'abadde asula mu mikwano gye kubanga muganziwe yamusuulawo.

Nanangwe  yagambye nti muganzi we bwe yategeera nti ali lubuto yamusalira  amagezi n'amuwa  5000/= okugenda  mu ddwaliro abasawo bamwekebejje   kyokka yagenda okudda mu kazigo kaabwe  nga muganzi we yasibyemu dda ebintu bye byonna n'abulawo .

Sarah Akampulira babuzeabuze Namuyinda ne muwalawe n'amusaba obutamutulugunya wabula amuleke azaale oluvannyuma addeyo asome oba okufuna kyakola .