ABAYIZI ku ssomero lya Mt. St. Mary’s College Namagunga battunse mu mizannyo egy'enjawulo ne kigendererwa ekyokunoonya ebitone mu baana bayizi.
Empaka zino ezibadde ezamayumba kiyite (inter house) zibaddemu 8 okuvuganya wakati wennyumba nnya okuli Vega, Orion, Triton ne Aquila nga beetabye mu mizannyo omuli emisinde, omupiira, Chess, Basketball, Volleyball, Lawn Tennis, Badminton n’emirala.
Abawanguzi nga bakwasibwa ebikopo
Omuwala Mich Prudence Shivan omuyizi wa siniya eyokuna yeetisse omuzannyo gw'emisinde bweyawangudde emisinde egya mmita 5000 ne 3000.
Rinah Mirembe nga naye wa nnyumba ya Vega yawangudde ezaakafubutuko mu mmita 100 ne 200 ate Michelle Aujo owa Aquilla nawangula eza mmita 800 ne 1500.
Akulira essomero lino sister Regina Nabawanuka yasinzidde mu mpaka zino n'asaba abaamasomero okufisaawo akadde kemizannyo kuba gyankizo eri okusoma kwomwana.
Abawanguzi baweereddwa ebirabo ebyenjawulo omwabadde certificate, emidaali nebikopo.