Abantu abawera nga 15 batwaliddwa mu ddwaaliro, nga bafunye ebisago eby’amaanyi, ttakisi mwe babadde batambulira bw'eremeredde ddereeva n'egwa ne yeefuula.
Akabenje, kabadde Kitinkokola mu ggombolola y'e Ttamu e Mityana, ttakisi Drone nnamba UA 219 EJ bw'egudde ne yeefuula emirundi egiwerako.
Ku bano, bataano bafunye ebisago bya maanyi era ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mityana gye bafunira obujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti okunoonyereza ku kivuddeko akabenje kugenda mu maaso.