Kasalabecca

Omuyimbi Kiflex asazeeko Kenzo mu Amerika ne bakola kolabo ya 'My Life' efuuse ensonga

Wadde nga Keflex abeera mu America wabula nzaalwa y'e Cameroon.

Omuyimbi Kiflex asazeeko Kenzo mu Amerika ne bakola kolabo ya 'My Life' efuuse ensonga
By: Mary Nambwayo, Journalists @New Vision


MWANA mulenzi Kiflex nga amannya ge amatuufu ye Kilian Afuso Fulie olwalabye omuyimbi Eddy Kenzo mu America ng'alabiseeko mu mpaka za Grammy n'akozesa akakisa kano n'anonya ku Kenzi ne bakola kalabo y'oluyimba lwe batuumye "My Life"

Wadde nga Keflex abeera mu America wabula nzaalwa y'e Cameroon.

Kiflex agamba yakoze akayimba kano nga tekoogera ku bulamu bwe nga'omuntu wabula nga kakwata ku buli muntu akola ekyamaanyi n'ekigendererwa okusobola okuva mu bulamu obubi.

Akayimba kano katandise okukwata abantu omubabiro.

Visiyo erimu abaana abazannyi okuva mu kibiina kya Masaka Kids Africana abanyeenya ebiwato n'e banyumisa oluyimba okuzaama.

Kiflex ne Kenzo nga basala ddansi

Kiflex ne Kenzo nga basala ddansi

Kiflex Ne Eddy Kenzo

Kiflex Ne Eddy Kenzo

Tags: