Kasalabecca

Omugole wa 'Honalebo' Mbidde azadde

OMUGOLE wa ‘honalebo’ Dr. Fred Mukasa Mbidde azadde. Mbidde, yakiikirirako Uganda mu Palamenti ya East Afrika era y’amyuka pulezidenti wa DP. Yakuba omuwala Phiona Nayebale embaga mu 2023.

Omugole wa 'Honalebo' Mbidde azadde
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

OMUGOLE wa ‘honalebo’ Dr. Fred Mukasa Mbidde azadde. Mbidde, yakiikirirako Uganda mu Palamenti ya East Afrika era y’amyuka pulezidenti wa DP. Yakuba omuwala Phiona Nayebale embaga mu 2023. 

Mbidde Ne Phiona

Mbidde Ne Phiona

Baabagattira mu Klezia ya Uganda Martyrs Basilica e Munyonyo, Kampala. Omukolo gwaliko abeebitiibwa abawera okuli; omumyuka wa sipiika wa Palementi, Thomas Tayebwa ne minisita Norbert Mao ate nga minisita Haruna Kasolo ye yali ‘Best Man’.

 

 Abayimbi okuli; Bebe Cool, Chameleone ne Nina Roz baalanyusa abantu.  Ababadde beebuuza ebibala by’embaga, bimaze ne bimeruka era Phiona yazadde muwala.

 

Nga musanyufu bya nsusso, Mbidde yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa X ne yeebaza omugole okuyita mu lutalo lw’okuzaala era n’amusuubiza nti, okufa kwe kulibaawukanya. Omwana eyazaaliddwa, yamuwadde erinnya lya Shatsi Nyonyozi Mbidde.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Mbidde
Mukasa
Phiona
Kuzaala
Bifaananyi