Eddagala lya siriimu ly’omira omulundi gumu omwezi ligguse

Apr 15, 2021

MU kaweefube w’okulwanyisa siriimu mu bakyala, Uganda yakwenyigira mu kunoonyereza ku mpeke emiribwa omulundi ogumu mu mwezi erya ‘Islatravir’ ng’egeraageranyizibwa n’eribaddewo erya ‘Truvada’.Dr. Brenda Gati Mirembe omukugu mu kunoonyereza ku biziyiza siriimu mu bakyala okuva mu The Makerere University- John Hopkins University Research Collaboration (MU-JU) agamba nti eddagala lino erya ‘Islatravir’ likolebwa kkampuni eyitibwa Merck Sharp & Dohme.‘Islatravir’ ddagala lya ARV’s era nga kyazuulibwa nga lisobola okuziyiza akawuka, omuntu atalina kawuka bw’alikozesa ayinza obutafuna bulwadde buno.Mu Uganda okunoonyereza kuno kugenda kukolebwa ku MU-JU naye kwakukolebwa ne mu mawanga amalala nga Kenya, South Africa, Zambia, Malawi, Eswatin , Zimbabwe .Mu ngeri y’emu, okunoonyereza kuno kugenda kukolebwa ne mu Amerika nga bagezesa empeke eno emiribwa omulundi ogumu mu mwezi eya ‘Islatravir’ ng’egeraageranyizibwa n’empeke eya ‘Truvada’ eyamba mu kuziyiza omuntu okukwatibwa siriimu, emiribwa buli lunaku .Ekigendererwa ekisinga mu kunoonyereza kuno kwe kulaba oba ng’empeke ya ‘Islatravir’ esobola okukola obulungi mu kuziyiza abakyala abali mu katyabaga k’okufuna akawuka ka mukenyenya, obutafuna siriimu, n’okulaba ba ng’empeke eyo terina bulabe eri muntu agikozesa.Okunoonyereza kuno kugenda kukolebwa ku bakyala 4,500 abali wakati w’emyaka 16 ne 45 era nga mu Uganda kugenda kukolebwa ku ddwaaliro lya MU-JU ng’abakyala 200 be bagenda okwetabamu.EBISAANYIZO BY’ABANEETABA MU KUNOONYEREZAOmukyala aneetaba mu kunoonyereza kuno alina okuba nga talina kawuka naye ng’ali mu katyabaga k’okufuna obulwadde bwa siriimu naddala nga yeetaba mu mukwano n’abaagalwa abasukka mw’omu, ali mu bufumbo naye ng’omwami we ali mu mukwano n’abakyala ab’enjawulo, ali mu bufumbo obulimu obutabanguko, abakyala banneekolera gyange, n’abalala.Omukyala anaasooka okuyingira mu musomo guno ayinza okumalamu ng’emyaka esatu naye oyo asembye okuyingira ayinza okumalamu omwaka gumu.Ku nkomerero y’okunoonyereza kuno, tulaba abakyala bameka abaafuna obulwadde nga bali mu kunoonyereza kuno naye nga tutunuulira abakya 40 bokka naye nga mu byonna twagala okulaba oba empeke eno ekola oba tekola.Empeke emiribwa buli naku okusobola okuziyiza okukwatibwa kw’akawuka ka mukenenya eya ‘Truvada’ weeri ku katale naye efunye okusoomoozebwa kwamaanyi kubanga, abantu abagikozesa bafunye okusoomoozebwa okumira eddagala lino buli lunaku, abamu bafuna okusoomoozebwa okulikozesa gye babeera, bafuna obutakkaanya n’abantu baabwe be babeera nabo kuba bwe babalaba nga balimira babatwala okuba abalwadde.Naye empeke eno emiribwa omulundi ogumu mu mwezi bw’esangibwa ng’ekola bulungi, ejja kwongera kwebyo abantu bye basobola okulondako ebigya mu mbeera zaabwe.

Eddagala lya siriimu ly’omira omulundi gumu omwezi ligguse

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

MU kaweefube w’okulwanyisa siriimu mu bakyala, Uganda yakwenyigira mu kunoonyereza ku mpeke emiribwa omulundi ogumu mu mwezi erya ‘Islatravir’ ng’egeraageranyizibwa n’eribaddewo erya ‘Truvada’.
Dr. Brenda Gati Mirembe omukugu mu kunoonyereza ku biziyiza siriimu mu bakyala okuva mu The Makerere University- John Hopkins University Research Collaboration (MU-JU) agamba nti eddagala lino erya ‘Islatravir’ likolebwa kkampuni eyitibwa Merck Sharp & Dohme.
‘Islatravir’ ddagala lya ARV’s era nga kyazuulibwa nga lisobola okuziyiza akawuka, omuntu atalina kawuka bw’alikozesa ayinza obutafuna bulwadde buno.
Mu Uganda okunoonyereza kuno kugenda kukolebwa ku MU-JU naye kwakukolebwa ne mu mawanga amalala nga Kenya, South Africa, Zambia, Malawi, Eswatin , Zimbabwe .
Mu ngeri y’emu, okunoonyereza kuno kugenda kukolebwa ne mu Amerika nga bagezesa empeke eno emiribwa omulundi ogumu mu mwezi eya ‘Islatravir’ ng’egeraageranyizibwa n’empeke eya ‘Truvada’ eyamba mu kuziyiza omuntu okukwatibwa siriimu, emiribwa buli lunaku .
Ekigendererwa ekisinga mu kunoonyereza kuno kwe kulaba oba ng’empeke ya ‘Islatravir’ esobola okukola obulungi mu kuziyiza abakyala abali mu katyabaga k’okufuna akawuka ka mukenyenya, obutafuna siriimu, n’okulaba ba ng’empeke eyo terina bulabe eri muntu agikozesa.
Okunoonyereza kuno kugenda kukolebwa ku bakyala 4,500 abali wakati w’emyaka 16 ne 45 era nga mu Uganda kugenda kukolebwa ku ddwaaliro lya MU-JU ng’abakyala 200 be bagenda okwetabamu.
EBISAANYIZO BY’ABANEETABA MU KUNOONYEREZA
Omukyala aneetaba mu kunoonyereza kuno alina okuba nga talina kawuka naye ng’ali mu katyabaga k’okufuna obulwadde bwa siriimu naddala nga yeetaba mu mukwano n’abaagalwa abasukka mw’omu, ali mu bufumbo naye ng’omwami we ali mu mukwano n’abakyala ab’enjawulo, ali mu bufumbo obulimu obutabanguko, abakyala banneekolera gyange, n’abalala.
Omukyala anaasooka okuyingira mu musomo guno ayinza okumalamu ng’emyaka esatu naye oyo asembye okuyingira ayinza okumalamu omwaka gumu.
Ku nkomerero y’okunoonyereza kuno, tulaba abakyala bameka abaafuna obulwadde nga bali mu kunoonyereza kuno naye nga tutunuulira abakya 40 bokka naye nga mu byonna twagala okulaba oba empeke eno ekola oba tekola.
Empeke emiribwa buli naku okusobola okuziyiza okukwatibwa kw’akawuka ka mukenenya eya ‘Truvada’ weeri ku katale naye efunye okusoomoozebwa kwamaanyi kubanga, abantu abagikozesa bafunye okusoomoozebwa okumira eddagala lino buli lunaku, abamu bafuna okusoomoozebwa okulikozesa gye babeera, bafuna obutakkaanya n’abantu baabwe be babeera nabo kuba bwe babalaba nga balimira babatwala okuba abalwadde.
Naye empeke eno emiribwa omulundi ogumu mu mwezi bw’esangibwa ng’ekola bulungi, ejja kwongera kwebyo abantu bye basobola okulondako ebigya mu mbeera zaabwe.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});