Olukalala lw’ababaka 200 abayitiddwa mu lusirika lwa NRM wiiki ejja

Apr 04, 2021

NRM efulumizza olukalala lw’ababaka 200 bokka abayitiddwa mu lusirika olutandika wiiki ejja.

Richard Todwong, omumyuka wa Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM ng’ali n’abakulu abalala abaddukanya ekibiina.

Jaliat Namuwaya
Journalist @New Vision

Bano be bamu ku babaka 337 abaayiseemu ku kkaadi ya NRM okukiika mu Palamenti ey’e 11.

Wabula ababaka 137 aba NRM ababadde mu palamenti ey’ekkumi nga baayitamu mu kisanja ekijja tebaayitiddwa mu lusirika olugenda okumala wiiki essatu e Kyankwanzi.

Sipiika Rebecca Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanyah bwe battunka ku kifo kya Sipiika nabo tebaayitiddwa.

Abamu ku babaka 200 abayitiddwa ye; Opolot Sidonius Okasai (Kumi), Opolot Simon Peter (Kanyum), Boco Okiror (Usuk) Atuto Jacinta (mukazi- Kapelebyong), Ayo Jennifer (mukazi - Kalaki), Jane Awich (mukazi - Kaberamaido), Alfred Elau (Keberamaido), Rose Emma (mukazi -Kween), William Chemonges (Kween), Gerald Nangoli (Elgon North), Irene Muloni (mukazi - Bulambuli), Werikhe Peter Christopher (Bubulo West), Godfrey Matembu (Butiru), Magola John Faith (Bungokho North), Kaala Kevin Ojinga (mukazi -Pallisa), Ochai Maximus (West Budama North), David Wakikona (Bukigaik), Moses Magogo (Budiope East), Brenda Namukuta (mukazi -Kaliro), Enock Nyongore (Nakaseke North), Bernard Ssekyanzi (Budyebo), Enos Asiimwe (Kabula), Gyaviira Semwanga (Buyamba), Mary Begumisa (mukazi - Ssembabule), Dicksons Kateshumbwa (Sheema Munisupaali).

Richard Todwong, omumyuka wa Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, yagambye nti kino bakikoze si mu bubi wabula baagadde okuwa ababaka abo obudde obumala okusobola okutambuza emirimu gya palamenti ey’omulundi ogw’e 10 enneetera okufundikira obudde bwonna, era ng’olusirika luno lwakwetabwamu abo bokka ababaka abapya abaayitamu ku kkaadi ya NRM ssaako n’abantu abalala.

Ng’asinziira mu lukuhhaana lw’abaamawulire olwatuuzidwa mu ofiisi z’ekibiina kya NRM e Kyaddondo ku Lwokuna, Todwong yategeezezza nti olusirika luno okusinga lugendereddwaamu okunyweza ekibiina kya NRM mu babaka abapya, obumu n’okubannyonnyola enkola y’emirimu mu palamenti.

Mujja kubaamu ababaka 43 abatalina kibiina, bammemba ba CEC 27, ababaka 6 aba palamenti ya EALA.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});