BMK atongozza ekitabo kyeyatuumye my Story of Building a Fortune in Africa

Mar 19, 2021

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atendereza Omusuubuzi Dr. Bulayimu Muwanga Kibirige olw’okubeeranga omwangu mu kusalawo ku bintu byayagala okukola n’agamba nti kino kikulu nnyo eri o muntu anaakulaakulana.Bino yabyogeredde ku Hotel Africana mu Kampala ku Lwokuna March 18, 2021 bweyabadde atongoza ekitabo ekiyitibwa MY STORY OF BUILDING A FORTUNE IN AFRICA ekyawandiikibwa BMK era n’agamba nti abantu bangi bagenda okuganyulwa mu kitabo kino.“Tuzze wano okutendereza Hajj BMK olw'ebyo byayiseemu. Asalawo mangu bwebamugamba nti bwogenda n’osuubula e Mbale ofuna, yasalawo mangu ebigaali byeyalina n’agenda asuubula. Bwobeera n’obumalirivu,obwesigwa osobola okulagira ensozi ne zivaawo,” Katikkiro Mayiga bweyamutendereza.Mu kwolesa obwangu, yategeezebwa nti obusuubuzi e Japan bufuna bwatyo mu 1982 n’atandika olugendo olumutwala e Japan nga mu nsawo ye yalinamu ddoola 52,000 nga mu nsimbi za Uganda bwe bukadde nga 518 nga yayitira Hong Kong..Mu Hong Kong gyeyalina okulinyira ennyonyi emutuusa e Japan wabula ng’ali mu lunyiri alindiridde okukeberebwa,n'awummuzaako ensawo ye wansi katono,omubbi n’agikwakulawo n’adduka nayo. BMK yagezaako okuleekaana ayambibwe,tekyasoboka.Mayiga era yeebazizza Dr.BMK olw’okubeerawo ennyo mu lugendo lw’okuddawo kw’Obwakabaka bwa Buganda n’agamba nti tewali lukiiko nanteekateeka gyatereddwamu natawereeza Kabaka we.“Nga bwabanyonyodde yaleeta ekirowoozo ky’okuddukirira abatawanyizibwa obulwadde bwa sikoseero era Ssabasajja Kabaka n’asiima okumala emyaka essatu ng’emisinde gye giri ku kaweefube w’okuddukirira abalina obulwadde buno. Nneebaza Katonda akuwadde omukisa okutuukiriza ekirooto ky’okuwandiika ekitabo kino,” Katikkiro Mayiga eyabadde ne Baminisita b’Obwakabaka abawerako bweyayongeddeko.Ekitabo kino, Katikkiro yakitenderezza ng’ekyobugagga BMK kyawadde ensi okusinga n’ebizimbe nga zi woteeri zataddewo kubanga amagezi agabirimu omuntu yonna gyali asobola okugakozesa era nga kyakubeerawo olubeerera bwatyo n’akubiriza n’abagagga abalala okuli Mansoor Matovu Young,Dr.Gaster Lule Ntakke n’abalala okuwandiika ebitabo.Mu kwogerako kwe, BMK yategezezza nga bwalina omukisa kubanga omuntu ataafuna kusoma kw’amaanyi(teyasooka kusoma kusukka P6) neeyerandiza okutuuka ku mutendera gw’omusuubuzi ali ku ddaala ly’ensi yonna era olw’okumanya amakulu g’ensimbi,yaweebwa n’ekitiibwa ky’Obwa Dokita.“Bwenatandika wooteeri Africana nayagala tubeere n’eddoboozi limu nentandika ekibiina ky’abannanyinni woteeri era twafuba netukyusa  essomero ly’ebyobulambuzi e Jinja okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza okudda mu minisitule y’ebyobulambuzi,mperedde abaana bangi okuli n’abo besimanyi ate nze ataasooka kusoma okutuuka lwenerwanako okutuuka wendi wabula kyenakola nasomesa abaana bange bonna wamu n’abooluganda,” Hajj Kibirige bweyategezezza.BMK yasinzidde wano nategeza nga bwatawanyizibwa obulwadde bwa kkokkoolo eyazuulibwa mu 2015 era abasawo nebamugamba nti wakubeera ku nsi emyaka ebiri kyokka yebazizza Katonda nti akyamukuumye kati emyaka mukaaga bwatyo nategeeza nga bwagenda n’okuwandiika ekitabo ku bulwadde buno ng’omulimu guno wakugukola wamu n’Omulabirizi Omubeezi owa Kampala mu kanisa ya Uganda, Bp Hannington Mutebi naye eyafuna obuzibu bwe bumu.Al-Hajj Kaddu Kiberu yeyayogedde ku lwa mikwano gya BMK era n’amwogerako ng’omuntu eyatandika okukola emirimu egigasizza eggwanga ku myaka emito okuli okuzimba omuzikiti ku kyalo Matanga- Masaka mu Buddu gyazaalibwa. Yagambye nti abantu okutandika okukola nga bakyali bavubuka kyekisinga obukulu era nategeza nga bwatakyayagala bantu kuva mu bitongole ebinene ku myaka 60 nebajja okumusaba amagezi n’agamba basanye okwetegekera obukadde nga bukyaali.Bannamawulire Denis Jjuuko ne Joachim Buwembo bebakole omulimu gw’okuwandiika ekitabo kino ogwalambikiddwa Munnabyanfuna Polof. Sam Ssejjaaka ng’ate kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde,bebaakikubye mu kyapa nga buli kimu kitundibwa 70,000/-.Abasuubuzi mu Kampala bangi beetabye ku mukolo guno era ne bagula ekitabo nga Hamis Kiggundu yakiguze obukadde 20,Mansoor Matovu Yanga obukadde 25, Godfrey Kirumira 10,Hassan Basajjabalaba 10,Gaster Lule Ntakke 5 n’abalala bangi era omukolo gwamaliriziddwa n’okusala keeki ng’oluvanyuma BMK yazinyeemu ku taali eryabadde livuga ekyasanyudde abagenyi wadde mugonvu,atambulira mu kagaali

BMK atongozza ekitabo kyeyatuumye my Story of Building a Fortune in Africa

NewVision Reporter
Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atendereza Omusuubuzi Dr. Bulayimu Muwanga Kibirige olw’okubeeranga omwangu mu kusalawo ku bintu byayagala okukola n’agamba nti kino kikulu nnyo eri o muntu anaakulaakulana.

Bino yabyogeredde ku Hotel Africana mu Kampala ku Lwokuna March 18, 2021 bweyabadde atongoza ekitabo ekiyitibwa MY STORY OF BUILDING A FORTUNE IN AFRICA ekyawandiikibwa BMK era n’agamba nti abantu bangi bagenda okuganyulwa mu kitabo kino.

“Tuzze wano okutendereza Hajj BMK olw'ebyo byayiseemu. Asalawo mangu bwebamugamba nti bwogenda n’osuubula e Mbale ofuna, yasalawo mangu ebigaali byeyalina n’agenda asuubula. Bwobeera n’obumalirivu,obwesigwa osobola okulagira ensozi ne zivaawo,” Katikkiro Mayiga bweyamutendereza.

Mu kwolesa obwangu, yategeezebwa nti obusuubuzi e Japan bufuna bwatyo mu 1982 n’atandika olugendo olumutwala e Japan nga mu nsawo ye yalinamu ddoola 52,000 nga mu nsimbi za Uganda bwe bukadde nga 518 nga yayitira Hong Kong..

Mu Hong Kong gyeyalina okulinyira ennyonyi emutuusa e Japan wabula ng’ali mu lunyiri alindiridde okukeberebwa,n'awummuzaako ensawo ye wansi katono,omubbi n’agikwakulawo n’adduka nayo. BMK yagezaako okuleekaana ayambibwe,tekyasoboka.

Mayiga era yeebazizza Dr.BMK olw’okubeerawo ennyo mu lugendo lw’okuddawo kw’Obwakabaka bwa Buganda n’agamba nti tewali lukiiko nanteekateeka gyatereddwamu natawereeza Kabaka we.

“Nga bwabanyonyodde yaleeta ekirowoozo ky’okuddukirira abatawanyizibwa obulwadde bwa sikoseero era Ssabasajja Kabaka n’asiima okumala emyaka essatu ng’emisinde gye giri ku kaweefube w’okuddukirira abalina obulwadde buno. Nneebaza Katonda akuwadde omukisa okutuukiriza ekirooto ky’okuwandiika ekitabo kino,” Katikkiro Mayiga eyabadde ne Baminisita b’Obwakabaka abawerako bweyayongeddeko.

Ekitabo kino, Katikkiro yakitenderezza ng’ekyobugagga BMK kyawadde ensi okusinga n’ebizimbe nga zi woteeri zataddewo kubanga amagezi agabirimu omuntu yonna gyali asobola okugakozesa era nga kyakubeerawo olubeerera bwatyo n’akubiriza n’abagagga abalala okuli Mansoor Matovu Young,Dr.Gaster Lule Ntakke n’abalala okuwandiika ebitabo.

Mu kwogerako kwe, BMK yategezezza nga bwalina omukisa kubanga omuntu ataafuna kusoma kw’amaanyi(teyasooka kusoma kusukka P6) neeyerandiza okutuuka ku mutendera gw’omusuubuzi ali ku ddaala ly’ensi yonna era olw’okumanya amakulu g’ensimbi,yaweebwa n’ekitiibwa ky’Obwa Dokita.

“Bwenatandika wooteeri Africana nayagala tubeere n’eddoboozi limu nentandika ekibiina ky’abannanyinni woteeri era twafuba netukyusa  essomero ly’ebyobulambuzi e Jinja okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza okudda mu minisitule y’ebyobulambuzi,mperedde abaana bangi okuli n’abo besimanyi ate nze ataasooka kusoma okutuuka lwenerwanako okutuuka wendi wabula kyenakola nasomesa abaana bange bonna wamu n’abooluganda,” Hajj Kibirige bweyategezezza.

BMK yasinzidde wano nategeza nga bwatawanyizibwa obulwadde bwa kkokkoolo eyazuulibwa mu 2015 era abasawo nebamugamba nti wakubeera ku nsi emyaka ebiri kyokka yebazizza Katonda nti akyamukuumye kati emyaka mukaaga bwatyo nategeeza nga bwagenda n’okuwandiika ekitabo ku bulwadde buno ng’omulimu guno wakugukola wamu n’Omulabirizi Omubeezi owa Kampala mu kanisa ya Uganda, Bp Hannington Mutebi naye eyafuna obuzibu bwe bumu.

Al-Hajj Kaddu Kiberu yeyayogedde ku lwa mikwano gya BMK era n’amwogerako ng’omuntu eyatandika okukola emirimu egigasizza eggwanga ku myaka emito okuli okuzimba omuzikiti ku kyalo Matanga- Masaka mu Buddu gyazaalibwa. Yagambye nti abantu okutandika okukola nga bakyali bavubuka kyekisinga obukulu era nategeza nga bwatakyayagala bantu kuva mu bitongole ebinene ku myaka 60 nebajja okumusaba amagezi n’agamba basanye okwetegekera obukadde nga bukyaali.

Bannamawulire Denis Jjuuko ne Joachim Buwembo bebakole omulimu gw’okuwandiika ekitabo kino ogwalambikiddwa Munnabyanfuna Polof. Sam Ssejjaaka ng’ate kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde,bebaakikubye mu kyapa nga buli kimu kitundibwa 70,000/-.

Abasuubuzi mu Kampala bangi beetabye ku mukolo guno era ne bagula ekitabo nga Hamis Kiggundu yakiguze obukadde 20,Mansoor Matovu Yanga obukadde 25, Godfrey Kirumira 10,Hassan Basajjabalaba 10,Gaster Lule Ntakke 5 n’abalala bangi era omukolo gwamaliriziddwa n’okusala keeki ng’oluvanyuma BMK yazinyeemu ku taali eryabadde livuga ekyasanyudde abagenyi wadde mugonvu,atambulira mu kagaali

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});