Omwogezi w’ekitongole kya UNBS Silvier Kirabo
TOP Bukedde STORY
2 months ago . 1 min Read
Baweze abakola eby'okunywa ebigambibwa okuwonya endwadde okuddamu okweranga

Ekitongole ekivunaanyizibwa kumutindo gw’ebintu muggwanga ekya UNBS nga kiri wamu n’aba NDA wamu n’aba UCC baweze ab'amakolero abakola ebyokunywa ebigambibwa okuwonya endwadde ezenjawulo okuddamu okweranga nga bayita ku mikuttu gy’ebyempuliziganya.

NewVision Reporter
Journalist @NewVision
0 views

Bya JALIAT NAMUWAYA

Bano okuvaayo nekiwandiiko ekiwera banamakolero bano okweranga kiddiride okwemulugunya okweyongede okuva mubantu nga balumiriza nti ebimu kuby’okunywa byebagamba okuwonya endwadde tebiziwonya wabula babakolamu bukozi ssente.

Omwogezi w’ekitongole kya UNBS Silvier Kirabo yategeezeza nti oyo yenna anamenya ekiragiro kino wakusimbibwa mumbuga z’amateeka era avunaanibwe.

Ebimu ku byebasazeewo kwe kuli eky’okubeera nti oyo yenna aba akoze eky'okunywa ekiwonya endwadde yonna nga tannakitwala kukiranga ku mikuttu gya byampuliziganya ateekeddwa kusooka kukitwala ku UNBS , ku NDA ne ku UCC bamale okukyekebejja olwo alyoke aweebwe olukusa .

Aba UNBS basuubira okutandika okusisinkana bannamakolero bano okuddamu okubajjukiza ensonga y'omutindo .

ADVERTISEMENT

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});
Related Articles