Latif togeza n'onyooma Ssegirinya - Bawagizi

Oct 12, 2020

Latif Ssebaggala abawagizi be bamulabudde obutanyooma Muhammed Ssegirinya

Latif togeza n'onyooma Ssegirinya - Bawagizi

Patrick Kibirango
Journalist @New Vision

Omubaka wa palamenti owa Kawempe North, Latif Ssebaggala ategeezeza nti tewali agenda kumuggya ku mulamwa gwa kukiikirira bantu b’e Kawempe okuggyako Katonda yekka  eyamuteeka mu bukulembeze buno.

Ssebaggala bino yabyogeredde Kyebando ku ofiisi ze bwe yabadde atongoza tiimu egenda okumunoonyeza akalulu gy'atuumye TIIMU LATIF SSEBAGGALA AFAAYO.

Ssebaggala yannyonnyodde nti by’akoze  birabikako omuli okulwanirira eddembe ly'obuntu nga y'ensonga lwaki n'abadde akulira ISO Col. Kaka Bagyenda yagobeddwa kubanga gaali maanyi ge bwe yakulemberamu ababaka banne okulaga ebikolebwa mu zi "Safe house".

Yagambye nti by’akoze birabika lwatu nti musajja wa maanyi era bw’omugeraageranya ku basambi b'omupiira  abanga omuteebi nga tewali nsonga lwaki abantu b’e Kawempe bayinza okukola ensobi  ne balonda banne abalema bavuganya nabo.

Ono era alumbye abamukolokota ku mikutu gya ‘social media’ ng'a batuuse n'okumukubamu katyuni y'omukazi emuvvoola, okukozessa ba kazannyirizi ba Bizonto okumuvvoola  n’ategeeza nti bino bya bwereere era tebiyinza kumuggya ku mulamwa ogw’okwongera kutwala kitundu kye mu maaso.

 

Kyokka ono abamu ku bawagizi ba Latif abeetabye mu lukungaana luno obutamwekwerera yamulabudde obutageezaako kuyisa maaso mu munne gwali naye ku mbirabye Muhammed Ssegirinya kubanga naye wa maanyi era yenywezezza nnyo. Baliko n'amagezi ge baamuwadde okuteeka mu nkola bw’abanga waakuddamu okweddiza ekifo kino.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});