Abakulembeze b'okubaka basatu bakalikiddwa

Jan 18, 2022

Akakiiko akakwatisa empisa mu kibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kagobye abakulembeze b’omuzanyo guno babiri mubifo byabwe eby'obukulembeze lwakutwala nsonga za kibiina mu kooti .Abakungu abagobeddwa kuliko abadde Amyuka pulezidenti w’omuzannyo guno kubyekikugu Richard Muhumuza nga ono asikiziddwa Rosette Kaala,  abadde omuwandiisi Aminah Mande asikiziddwa Harriet Apolot abadde ku kukyobumumyuka.

Abakulembeze b'okubaka basatu bakalikiddwa

Olivia Nakate
Journalist @Bukedde

Akakiiko akakwatisa empisa mu kibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kagobye abakulembeze b’omuzanyo guno babiri mubifo byabwe eby'obukulembeze lwakutwala nsonga za kibiina mu kooti .Abakungu abagobeddwa kuliko abadde Amyuka pulezidenti w’omuzannyo guno kubyekikugu Richard Muhumuza nga ono asikiziddwa Rosette Kaala,  abadde omuwandiisi Aminah Mande asikiziddwa Harriet Apolot abadde ku kukyobumumyuka.Abadde omwogezi w’ekibiina Ssengabi Yahaya ye awumuziddwa nga asikiziddwa Olivia Nakate abadde omuwandiisi wakakiiko kamawulire mu kibiina kino.Okusinziira ku pulezidenti w’ekibiina ky’omuzanyo gw’okubaka Sarah Babirye Kityo agamba  Aminah Mande ne Richard Muhumuza batwala ekibiina mumbuga zamateeka ekintu ekikontana ne ssemateeka afuga ekibiina ky’okubaka."okugonjola obutakaanya mu kibiina ky'okubaka kulambikiddwa bulungi. Bw'owulira nga tomatidde osobola ensonga zo okuzitwala mukakiilo akalabirira ebibiina by'emizannyo byonna mu ggwanga aka National Cuncil of Sports oba Uganda Olympics Committe.

Re 3

Re 3

Bwebigaana osobola ojkweyongerayo  mu Kibiina ekifuga omuzannyo ku lukalu lwa Africa oba Ekigutwala mu nsi yonna,"Babirye bweyatangaziza.Yahaya Ssengabi ye akyalina omukisa oguwulirwa mukakiiko akwakwatisa empisa nga ono akakiiko kano kekokusalawo ekibonerezo eky’okubaweebwa.Ttabamiruka w’ekibiina asubirwa okutuula  omwezi ogujja ogwa February  okulonda abanadda mubifo ebikalu oba okukakasa abo ababirondeddwamu.Obukulebeze obuggya oby’omuzannyo gw’okubaka bwajja mubuyinza nga ennaku z’omwezi 05 omwezi gwa June omwaka oguwedde 2021 nga kati baweza emyezi musanvu nga bakulembera ekibiina kino

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});