Bya Julius Kiguli
Abadigize beeyiye e Nansana ku Makutano Hotel nga basanyukira okuyingira omwaka n’omukulembeze w’eggwanga okugya eggwanga ku muggalo.
Bano betusanze mu masanyu nga bawuga n’okunywa batutegeezezza nti basanyufu nnyo oluvannyuma lw’emyaka ebiri ng’ eggwanga liri ku muggalo naye pulezidenti Museveni n’aliggulawo.
Bano bategeezezza nti oluvannyuma ng’ abaana baakadda ku masomero baakubinuka masejjere beemaleko ekiwuubaalo.
Bategeezezza nti baakugoberera ebiragiro byonna ebitangira covid - 19 ng’omukulembezze bwe yabyogedde ne bakubiriza ne Bannayuganda okwekuuma obulwadde bwa Covid -19.