• May 30, 2021 . 1 min Read
  • Abasirikale ba paapa 8 bambaziddwa ebitiibwa byabwe mu bujjuvu

Abasirikale ba paapa 8 bambaziddwa ebitiibwa byabwe mu bujjuvu
Ponsiano Nsimbi
Journalist @New Vision

Abaweereddwa ekitiibwa kino mu bitongole kuliko; Emmanuel Katongole, Joseph Yiga n'omukyala, Peter Kasenene, Thereza Mbire, Dr. Saturnirus Kasozi Mulindwa, Anthony Nnaakirya Mateega ne Immaculate Mary Nansubuga.

Bano baweereddwa buli omu omusalaba, ekiwandiiko okuva ewa Paapa ekibakakasa ku bitiibwa bino, ebiso, okwambazibwa enkofiira n'ebirala era nga bano omusumba Ssemogerere abakuutidde okubeera abawulize eri Paapa n'Eklezia n'okubeera abaweereza abalungi.

Papa1

Papa1

Ono abadde ayambibwako omusumba w'e Masaka Severus Jjumba nga mmisa yeetabiddwamu abakulembeze ab'enjawulo okuli omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi, amyuka sipiika wa Palamenti, Anita Among, n'abalala .

Papa2

Papa2

Omusumba Ssemogere akwasizza Among Bayibuli n'amusaba okukulembeza Katonda mu bukulembeze bwe.

Kinnajjukirwa nti bano baali bakutongozebwa omugenzi Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ku Paasika.

Papa3

Papa3

ADVERTISEMENT

Related Articles
(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});