'Nzize kugogola Gombe Division'
May 22, 2021
Meeya wa Gombe Town Council Ronald Kabembula Kasirivu olumaze okulayizibwa n'ategeeza nga bw'azze okugolola ekitundu kino kisobole okututumuka olwo disitulikiti esobole okufuna emikisa gy'okufuulibwa City.
'Nzize kugogola Gombe Division'
Kasirivu okwogera bwati abadde amaze okukuba ebirayiro bye ne bakansala abalala 30 nga balayiziddwa Town Clerk Francis Byabagamba.
Ategeezezza nti ekitundu kiri mu mbeera mbi ddala nga gy'azze okumalawo.
Img 1668
Asuubizza okukwatagana n'Obwakabaka bwa Buganda okulaba nga Gombe division efuna 'lease' okunaazimbibwa ekitebe kyabwe.
Ssentebe wa disitulikiti y'e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika amusabye okufaayo okulaba nga alwanyisa aboonoona obutonde bwensi obuli waggulu mu kitundu kino.
Img 1663
No Comment