Ab'e Makindye basabidde omwoyo gwa Ssaabasumba Lwanga

May 15, 2021

BWANNAMUKULU  w'ekigo kya St. Agnes Kibuye -Makindye Fr. Joseph Lugobe atenderezza omukululo Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga gwe yaleka mu bitongole eby’enjawulo n’eggwanga lyonna. 

Ab'e Makindye basabidde omwoyo gwa Ssaabasumba Lwanga

Ponsiano Nsimbi
Journalist @New Vision

Bino abyogeredde mu Lutikko e Lubaga bw’abadde akulembeddemu Abakristu okuva mu kigo kya Kibuye Makindye okulamaga n’okwetaba ku mikolo egy’okusabira n’okusiibula Dr. Lwanga. 

Oluvannyuma lwa mmisa, Fr. Lugobe ng’ayambibwako omumyuka we Fr. John Mary Walugembe bakulembeddemu Abakristu mu mikolo egy’okuganzika ebimuli n’okusabira omwoyo gw’omugenzi mu ngeri ey’enjawulo. 

Yagambye nti okumanya Dr.Lwanga yaleka omukulolo mu bitongole ebisinga by’otuukamu, osangamu ekifaananyi kye n’ebintu eby’enjawulo bye yakola okwetooloola  eggwanga lyonna. 

Wano we yasinzidde n’asaba buli muntu okwekubamu ttooci yeebuzze byayinza okujjukirwako ng’avudde mu nsi era n’abawa  amagezi okukozesa omukisa Katonda gwabawadde okubaako bye bakola ate n’okubyeyagaliramu. 

Agambye nti buli muntu alina okuyitibwa kwe era asaana akukozesa bulungi ng’aweereza omukama ne bantu banne. 

Ssaabakristu w'ekigo kino, Evaristo Sseguya yagambye nti Ssaabasumba yali musajja omukozi, anywerera ku nsonga ate eyali omusaale ennyo mu kulwanirira eddembe ly’obuntu. 

Agambye nti olw’okuba abantu abasing tebaafuna mukisa kwetaba ku mikolo gy’okuziika Ssaabasumba, basazeewo okukozesa omukisa guno okujja ng’Abakristu ba Kibuiye Makindye okwetaba mu nteekateeka z’okukunguba mu butongole. 

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});