Jajja w'obusiraamu asabye abantu bonna abali mu kkomera elw'ebyobufuzi bateebwe

May 13, 2021

ABAKULEMBEZE b’Obusiraamu basabye gavumenti eyimbule abantu bonna abaakwatibwa olw’eby’obufuzi badde mu bantu baabwe.  

Jajja w'obusiraamu asabye abantu bonna abali mu kkomera elw'ebyobufuzi bateebwe

Joseph Makumbi
Journalist @New Vision

ABAKULEMBEZE b’Obusiraamu basabye gavumenti eyimbule abantu bonna abaakwatibwa olw’eby’obufuzi badde mu bantu baabwe.

Omulangira Dr. Kassim Nakibinge yasinzidde mu maka ge e Kibuli n’ategeeza nti, eby’okulonda byawedde, kye kiseera abantu bonna abaakwatibwa olw’eby’obufuzi bayimbulwe.

“Tewali nsonga lwaki tugwangana mu malaka olw’ensonga eya kiyita mu lujja.” Nakibinge bwe yagambye.

Yagasseeko nti, omuntu tosobola kumukaka kwagala ky’atayagala ate era tewali ngeri gy’osobola kumukyayisa ky’ayagala n’asaba bayimbulwe.

Yasaasidde n’abantu abafiirwa abantu babwe mu busambattuko obwaliwo nga November 18 ne 19, 2020 ssaako abaafiira mu kunoonya akalulu.

Yagasseeko okusaasira Obusiraamu olw’okufiirwa Sheikh. Nuhu Muzaata, Dr. Anas Kaliisa, Hajji. Musa Katongole ssaako Klezia olw’okufiirwa eyali Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga n’Omusumba John Baptist Kaggwa eyali ow’e Masaka.

Comments

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});