Abayizi mwongera obuyiiya n'okukola okunoonyereza - Minisita

Apr 29, 2021

JUDITH Nabakooba Minisita 'amawulire ne tekinologiya , akubirizza abayizi ba yunivasite y’e Makerere okwongera amaanyi mu kuyiiya n’okunoonyereza.

Minisita Judith Nabakooba ng'akalaatira abayizi okwongera okukola okunoonyereza bavumbira ebipya n'okugonjoola ebizibu ebiriwo naddala mu tekinologiya

Francis Owori
Journalist @New Vision

Bino bibadde ku yunivasite y’e Makerere ku lunaku lwa Innovation Open Day nga abayizi balaga engeri gye bayinza okukozesa tekinologiya okusobola okugonjoola ebizibu ebimu mu ggwanga n’addala endwade nga ssenyiga omukambwe.

Nabakooba yategeezezza nti omulembe gwe tulimu gujjudde ebizibu bingi naye nga ebisinga bisobola okugonjoolebwa nga tweyambisisa tekinologiya era Gavumenti yeeyamye okussa amaanyi mu bavubuka abato abavuddeyo nga bayiiya engeri gye bayinza okumawo ebizibu ebimu.

Makerere 1 (1)

Makerere 1 (1)

William Bazeyo akuliba Public Health e Makerere yategeezezza nti yunivasite yaakwongera okulaba nga bongera amaanyi ku kunoonyereza nga bakozesa tekinologiya nga bafunye obuvujjirizi okusobola okwongera okusomesa abantu ku bintu eby’enjawulo.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});