VibeMix: Leero tukuletedde ono!!! Akuula ebintu mu mibiri gy;abantu, agamba buli awakana nti takola buweereza bwa bwa Katonda mumutwalire abalwadde bammwe bemwekakasa abawonye nga mulaba ate tabasaba ssente wadde ekikumi. Agamba nti yye teyasoma era yakulira mu nnaku naye yasookera ku kitaawe okumulaga nti mu baana be yye ssi wabulijjo. Yamulabula obutagenda na mukwano gwe mu kinyweero nti yali ajja kukubwa omuti afireyo Taata n'awakana, era kyatuukirira omusajja yafa era Taata n'atabukira mutabani we n'amukuba bubi n'amusuubiza okumutta. Ono ye Brother Innocent Mbabazi. Alabudde abamuyita Omufere, nti mwandimwesonyiye.