Uganda etongozza enkolagana n’aba Bulaaya

TTABAMIRUKA wakati wa Uganda n’amawanga ga Bulaaya atandise mu ofiisi y’Obwapulezidenti okutumbula ebyobulambuzi, ebyobusuubuzi n’okuleeta kuno bamusigansimbi n’okufunira Bannayuganda emirimu mu Bulaaya.

Ambaasada Abby Walusimbi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Uganda-European Convention

TTABAMIRUKA wakati wa Uganda n’amawanga ga Bulaaya atandise mu ofiisi y’Obwapulezidenti okutumbula ebyobulambuzi, ebyobusuubuzi n’okuleeta kuno bamusigansimbi n’okufunira Bannayuganda emirimu mu Bulaaya.

Ttabamiruka ono eyatuumiddwa Uganda-European Convention (UEC) akulembeddwa ofiisi y’omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Bannayuganda ababeera ebweru, Abbey Walusimbi.

Ono yagambye nti ono y’omu ku kaweefube wa Pulezidenti Museveni okugaggawaza abantu n’okubafunira emirimu, ng’essira liri ku kutumbula ebyobulimi ebivaamu ssente, okufuna bamusigansimbi bakole kuno amakolero, n’emirimu emirala egy’obuweereza obutakwatibwako (services) ssaako ebyempuliziganya ne tekinologiya.

Olukiiko luno lwetabiddwaamu bannamakolero okuva mu Bulaaya abaalaze obwetegefu okusiga ensimbi mu kwongera omutindo oba okukola ebintu ebiwedde okuva mu bintu Uganda omuli ebyobulimi n’obulunzi, ebyamaguzi bya Uganda byongere okufuna akatale e Bulaaya kw’ossa okutumbula ebyobulambuzi n’obuvumbuzi.

Ttabamiruka ono yatudde ku kitebe kya ofiisi y’Obwapulezidenti mu Kampala wansi w’omulamwa: Okutumbula okutandikawo emirimu n’obuvumbuzi. Yagguddwaawo omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Uganda, Rukia Nakadama, eyakiikiriddwa minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba, n’atendereza enkolagana ya Uganda n’amawanga ga Bulaaya.

Eyakiikiridde omukago gwa Bulaaya, Sofian Dahmani, yagambye nti baagala okutumbula abavubuka mu Uganda nga bayita mu kusiga ensimbi mu bntu bye balinamu obukugu n’okutumbula ebyobusuubuzi.