Sheikh Yasin Ssemambo aleppuka na gwa kusangibwa na masasi ga UPDF
SHEIKH eyakwatibwa ku byekuusa okubeera n'akakwate ku ba ADF asimbiddwa mu kkooti y'amagye, avunaaniddwa okubeera n'ebyokulwanyisa bya UPDF.
Ssemambo mu kaduukulu ka kkooti y'amagye gy'avunaaniddwa.
By Margaret Zalwango
Journalists @New Vision
#ADF #UPDF #Sheikh Yasin Ssemambo
SHEIKH eyakwatibwa ku byekuusa okubeera n'akakwate ku ba ADF asimbiddwa mu kkooti y'amagye, avunaaniddwa okubeera n'ebyokulwanyisa bya UPDF.
Sheikh Yasin Ssemambo 47 omutuuze Mbikko mu disitulikiti y'e Buikwe avunaaniddwa okubeera n'amasasi mu bukyamu.
Ono yakwatibwa ekitongole kya CMI NGA kigambibwa yalina akakwate ku bayeekera aba ADF , olwaleero avunaaniddwa okubeera n'amasasi 23 agagambibwa nti ga bajaasi b'eggwanga.
Ssemambo ebivunaaniddwa abyegaanye, era oludda oluwaabi nerutegeeza nti okunonyereza kuwedde beetegefu okuleeta abajulizi ku olwo.
Ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Robert Mugabe amusindise ku limamdi okutuusa nga February 27,2024.
Ssentebe wa kkooti alagidde oludda oluwaabi okuleeta abajulizi ku olwo.