Poliisi ye Kakiri erinnye eggere mu lukiiko olwayitiddwa okugonjaala ensonga z'ebibanja

Poliisi ye Kakiri erinnye eggere mu lukiiko olwayitiddwa okugonjaala ensonga z'ebibanja 

Poliisi ng'egoba ababadde bazze okwetaba mu lukiiko
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

POLIISI ye Kakiri mu Wakiso erinnye eggere mu lukiiko olwayitiddwa omuyambi wa pulezidenti ku nsonga z'abebibanja ng'egamba nti terwabaddewo mu mateeka.
Olukiiko olwategekeddwa Abraham Luwalira pulezidenti Museveni gwe yakwasa ensonga z'ab'ebibanja, lwabadde lutegekeddwa ku kyalo Busamba mu ggombolola ye Namayumba e Wakiso.
Ensonga enkulu nti yabadde yakulaba ab'ebibanja abasula ku tebukye bwebayinza okuyambibwa ku yeyita nannyini ttaka Bena Nakato abagobaganya ku bibanja byabwe.
Poliisi ng'ekulembeddwa Dpc wa Kakiri Hassan Mugerwa, yayimirizza olukiiko era neyiwa basajja baayo ku ttaka nga babagalidde emmundu n'emikebe gya ttiyagaasi.

Abatuuze nga boogera ku kikolwa kya Poliisi

Abatuuze nga boogera ku kikolwa kya Poliisi


Abatuuze abaabadde bakung'aanye mu bungi baawunikiridde nga gwe baabadde balinda ate poliisi emulemesezza okutuuka mu kifo ewaabadde olukiiko ng'egamba kimu nti olukiiko terumanyiiko.
Luwalira yategezezza Bukedde nti yafuna okwemulugunya ku byalo bina okuli Busamba, Kinnyika, Ngondwe ne Gayazanti abantu abamu batulugunyizibwa ate abalala nebasalibwako kubibanja byabwe kumpaka. 
Yagambye nti Bena Nakato yakuliddemu okutulugunya abantu nga yatuuka n'okuleeta bakanyama ku ttaka abasula nga bagobaganya abatuuze ssaako okubasalako ebibanja byabwe.
"Ensonga ebadde endeese siyakugabanya bibanja wabula okusomesa abantu abali ku bibanja kubutya bwebanyweza obusenze bwabwe nga bakwatagana ne nannyini ttaka." Luwalira bweyayongeddeko. 
Yewunyizza poliisi y'e Kakiri okumwegaana kyokka ng'ekimanyi nti temanyi ku lukiiko kyokka nga yabawandikira ebbaluwa era nebalaga nti nabo bazifunye.
Luwalira yagambye nti Nakato yajja ku ttaka ng'omupunta kyokka nti nakola olukujjukujju nafuna ekyapa ky'ettaka okuva ku Richard Semitala ne Esterias Ssegantebuka abagamba nti bebanannyini ttaka era obuyinza nabweddiza.

Amakubo agagambibwa nti  Nakato yagala mu bibanja

Amakubo agagambibwa nti Nakato yagala mu bibanja


Yategezezza nga bwagenda okusisinkana minisita w'ebyettaka Judith Nabakooba balabe bwebayamba ku batuuze.
Kyokka Bukedde yagezezaako okukubira Nakato essimu wabula nga tazikwata. Bwe twanonyezza omu ku baakola nabo (amannya gasirikiddwa) n'agamba nti tewali agenda kubalemesa kukozesa ttaka nga bwe baagala.
Juliet Nanyange omu b'ebibanja ku ttaka lino yagambye nti Nakato yabategezezza nga bweyabakoledde ebyapa nti atabyagala ave ku ttaka nebewunya abataakola ndagaano yonna ebyapa abiretedde mu mannya ki

Nanyange yagambye nti ekibanja kye yakeera bakisazeemu amakubo amanene era bwe yabuuza Nakato oba yeyakikoze nagamba nti buli kyakola akikolera mu mateeka. 
"Ebyapa Nakato byagenda okugaba tetumanyi biriko mannya ki, bipimo ki era byakoleddwa ku kukkiriziganya kwani. Bakanyama beyareeta basula batutiisatiisa." Nanyange bweyayongeddeko.
Ye James Mugenyi yategezezza nti Nakato talaga nga byalo biwandiiko biraga nti ye nannyini ttaka era kkooti yalagira nti tewali kiddamu kukolebwa ku ttaka okutuusa ng'omusango ogwawabirwa ab'ebibanja gusaliddwa.
Yagambye nti singa Nakato abadde mutuufu, lwaki akozesa poliisine bakanyama okugobaganya abantu mukifo ky'okutuula nabo nabasaba okwegula oba okuwa busuulu.
Yekkokkodde embeera poliisi ye Kakiri gye yataddewo nagamba nti yandibadde ekkiriza olukiiko nerubaawo poliisi netekawo buteesi bukuumi kuba olukiiko lwabadde sirwakukuma mubantu muliro.

Abatuuze nga bali mu makubo agaasalibwa mu bibanja

Abatuuze nga bali mu makubo agaasalibwa mu bibanja


Gyebuvuddeko minisita w'ebyettaka Judith Nabakooba yagenda ku ttaka lino era nalagira akakiiko ka pulezidenti akalwanyisa enguzi kakole lipooti mubwangu.
Ebyavaayo akakiiko kaalagira Nakato okujja bakanyama ku ttaka era nekamusaba akozese eryo ettaka lyokka lyalina okutali bantu ewali abasenze alireke ppaka nha kkooti ewedde.
Kyokka Nakato nti kino yakizimuula n'atandika okusala amakubo mubibanja by'abantu nga nabamu bwabatiisatiisa okwamuka ebibanja byabwe.