MINISITA omubeezi ow'ebyettaka mu ggwanga, Dr. Sam Mayanja asazizzaamu ekyapa kya Kampuni ya Mukwano ekiwezaako obwagaagavu bwa yiika 245 mu Disitulikiti y'e Kyenjojo.
Kino kyaddiridde abatuuze okwekubira enduulu mu Minisitule y'ebyettaka nga beemulugunya ku Kampuni eno okutwala ettaka lyabwe nga kw'otadde okubakoonera amayumba wamu n'okusanyaawo ebirime by abwe mwe baggya eky'okulya.
Abatuuze okusooka baategeezezza Mayanja nti baali basanyukidde ekya Kampuni eno okujja mu kitundu olw'okubawa emirimu mwe bafuna ssente nga kukola mu masamba g’amajaani n’ebirala kyokka ate n’ebeefuulira okutandika okubatwalako ebyabwe.
Embeera okutuuka okwonooneka, nga yiika 100 ezigambibwa okuba nga si za Mukwano ate batandise okuzeyongeza nabo kwe kusitukjiramu okuloopa ensonga eno okufuna obwenkanya.
Abakulembeze ba Disitulikiti okuviira ddala ku Ssentebe wa LCV Gilbert Rubaihayo, RDC n’abalala baavuddeyo mu maaso ga Minisita ne bavumirira ekya Mukwano okutwala ettaka ly’abatuuze baabwe ate n’okubononera ebintu byabwe okuli ebirime ne basaba kampuni eno okubeerawo n’abantu mu Mirembe.
Bapuliida ba Mukwano abakulembeddwamu Richard Mugisha baafunye akadde akazibu okweyogerako abatuuze bwe baabatabukidde nga babalanga okubatwalako ettaka wabula mu kwanukula, yategeezezza abantu abamu baafuna ku ssente z’okubaliyira ekyatabudde abalala.
Oluvannyuma lwa Minister okuwuliriza ensonga zino, yalagidde ekyapa kya Mukwano ekya yiika ezisukka mu 200 kisazibwemu bunnambiro kubanga bano baabadde bagobaganya abantu ku ttaka ekitali kituufu era n’avumirira ekikolwa kino.
Mayanja yataddewo akakiiko akakulemberwa RDC n’abalala mwenda okwekennenya ebyapa bino era yabawadde nsalessale wa myezi esatu okumuwa alipoota ku nsonga zino era kino kyalesse abataka nga bafunye akaseko ku mataka olw’okuddizibwa ku bibanja byabwe.