Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kunoonyereza mu by'obulimi mu ggwanga ki National Agriculture Research Organisation NARO kisiimye bannassaayansi abasinze okuvumbula ebika by’ensigo ennongooseemu ebisobola okugumira ekyeya, ebikula amangu, ebitakwatibwa buwuka ate nga birimu ebiriisa ebiyamba emibiri okubeera emigimu n’okulwanyisa endwadde