EMMOTOKA yonna buli lw’ebeera etambula abeera esuubirwa okunywerera ku ttaka esobozese abagitambuliramu okutambula obulungi olugendo lwabwe nga batebenkedde.
Newankubadde kisuubirwa bwekityo, kyokka waliwo emmotoka ezimu eziremwa okunywera ku ttaka nga zitambula zikankana ng’owulira ng’ebuukabuuka.Kino kiva ku nsonga ez’enjawulo era singa omugoba tagyanguyira esobola okuvaako akabenje.
Yasin Lusiba, makanika ku Agaati Garage e Luzira agamba nti emmotoka okutandika okukankana nga etambula kiva ku;
l Coil z’emmotoka; Coil zisangibwa kumpi ne plug z’emmotoka nga zezivunaanyizibwa ku kutambuza omuliro oba amasannyalaze okugaggya mu plug okugatuusa wegalina okulaga. Singa coil eno efuna obuzibu bwonna nga tekyasobola kuggyayo masannyalaze kireetera emmotoka okukankana nga tetereera ku luguudo kubanga eba tefuna muliro gumala. Oluusi coil zino zimanyi n’okukuba era singa ekuba kitegeeza nti sisitimu ecankalanye.
l Flowmeter y’emmotoka; Eno oluusi eyitibwa Mass Air flow (MAF) sensor oba ekimiro ky’emmotoka nga eno omugaso gwayo gwa kusengejja masannyalaze n’empewo nga eweereza ku yingini kyokka singa akuuma kano kafuna obuzibu bwonna kitegeeza nti sisitimu y’omuliro eba tekyatambula bulungi ekiviirako emmotoka okwekanga n’ebeera ng’ekankana.
l Nozo (Nossal) y’emmotoka; Buno bubeera buseke obuvunaanyizibwa ku kutambuza amafuta era singa kubeerako akamu akacankalanye kitegeeza nti n’ekimu ku bisenge bya yingini ekya Plug kibeera tekikola. Kino kiviirako sisitimu y’amafuta okucankalana negalemererwa okutambula obulungi nga kino kiviirako emmotoka okwekanga nga n’oluusi ezikira.
l Ggiya: Ebiseera ebisinga omugoba bw’aba yakakoleeza emmotoka, yingini ebeera teriiko muliro mungi kyokka singa ateekamu ggiya n’eddira amasannyalaze ga yingini n’aga ggiya bbookisi negegatta omuliro gubeera gusobola okutambula obulungi. Ggiya olina okuzikanika kisobozese emmotoka okukola ky’ogiragira so si kugiragira n’ekolamu kirala.