Vidiyo

Akabenje katuze 14 ku lw’e Gulu

Abantu 14 bafudde n'abalala 28 ne balumizibwa mu kabenje bbaasi bw'etomereganye ne lukululana ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

Akabenje katuze 14 ku lw’e Gulu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 14 bafudde n'abalala 28 ne balumizibwa mu kabenje bbaasi bw'etomereganye ne lukululana ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.

 

Kabaddewo ku ssaawa nga 3:00 n'ekitundu mu kiro ekikeesezza leero mu Bobi trading center bbaasi nnamba UBE 110 H Isuzu eya kkampuni ya Travellers Company ne Trailer nnamba KBS 564D / ZE 7948 a Mercedes Benz Actors bwe zitomereganye bwenyi ku bwenyi..

 

Kigambibwa nti dsereeva wa bbaasi abadde agezaako okuwonya ow'ebigere, kwe kumulemerera n'atomeregana ne ttuleera.

 

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula ekyavuddeko a Kabenje.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Vidiyo
Musasi
Bukedde