Abaana abasoba mu 4000 ababundabunda bafunye omukisa okulya ekyemisana mu masomero
ABAANA abasukka mu 4000 okuva mu Nkambi z’abanoonyi b’obubudamo okuva ey’e Bidibidi, Palorinya ne Patabek eziri mu bitundu by’amambuka ga Uganda bagenda kutandika okulya ekyemisana ku masomero kino kibasobozese okusoma obulungi.
Dinah Morgan Nambooze akulira Stromme Foundation mu Uganda ng'alya n'abaana be bawadde ekyemisana.
Bino biri mu buyambi obuweereddwayo ekitongole kya Stromme Foundation n’ekigendererwa eky’okutumbula ebyenjigiriza ku bitundu ebyo naddala ng’abayizi abava mu nkambi z’obubudamo waakiri okusoma nga tebalumwa njala.
Ekitundu ky’amambuka ga Uganda naddala West Nile kirimu abanoonyi b’obubudamo abasukka mu 185,793 kyokka ng’ekyennaku ennyo, kumpi ebitundu 60 ku 100 baana bato nga beetaagibwa okufiirabwako nabo basobole okukula obulungi.
Bwe yabadde ayogera mu kutongoza enteekateeka eno e Kiranga mu Bidibidi, Dinah Morgan akulira Stromme Foundation mu Uganda yagambye nti baafunye obuyambi okuva mu bantu ssekinnoomu okuva mu ggwanga lya Norway wamu ne mu Gavumenti y’eggwanga eryo ezeeyambisiddwa mu kufuna emmere wamu n’ebyoto ebikekkereza enku kiyambeko ne mu kutaasa obutonde bw’ensi.
Abaana ku ssomero erimu mu mambuka nga bafuna ekyemisana.
Morgan yayongeddeko nti ssente ze zimu ze baafunye zaakuyambako mu kuteeka amazzi amayonjo mu kitundu abantu basobole okwewala endwadde ate n’okusomesa obukiiko obwateereddwawo okuyambako mu kubangula abantu omugaso gw’okuwa abayizi eky’emisana nga bali ku masomero.
Yasuubizza mu ngeri y’emu okuyambako ekitundu okusimba emiti egy’ebibala wamu n’egikula amangu abaana basobole okufuna eby’okulya ate n’okufuna enku ez’okufumbisa.
Abaana ng'essanyu libula okubatta oluvannyuma lw'okufuna ekyemisana ku ssomero.
Hanifah Nyangoma, omu ku batwala ebyenjigiriza mu Bidibidi yagambye nti enteekateeka y’okuwa abayizi ekyemisana nga bali ku masomero kijja kubayamba okwewala endwadde eziva ku ndya embi ate n’okubayamba okusoma obulungi bw’atyo n’asiima aba Stromme Foundation olw’enteekateeka eno.
Rose Modon, omu ku bazadde mu nkambi ya Bidibidi yasabye Gavumenti okukwatagana
n’ebitongole ebya nakyewa mu kulwanyisa enjala mu bitundu bino kubanga abantu bangi tebalina busobozi buliisa baana baabwe kyamisana na kya ggulo ng’oluusi basulira amazzi gokka ekintu eky’obulabe eri obulamu bwabwe.