Ekikonde n'okusikangana ebitogo bibuutikidde ekitebe Kya divizoni ye Nansana abantu abasengulwa mu bitundu bya Lubigi bwebabadde balwanira emmere omuli akawunga n'ebijanjaalo ebibaweereddwa ssentebe wa divizoni eno.

Abantu nga balwanira emmeere
Abatuuze bano abavudde mu bitundu omuli Nansana ne Nabweru nga bano ennyumba zaabwe ssaako business zaabwe zamenyebwa mu bikwekweto bya NEMA abakedde ku divizoni ye Nansana nga abamu bagudde bakubaganye nga balwanira emmere eno.
Wano RDC wa Nansana Ali Shafick Nsubuga walabulidde bannabyabufuuzi abasusse okuzanyiira mu nnaku ya batuuze b'omulubigi bwatyo nasiima ssentebe Matovo olwokusalawo okuddukirira abantu be nga ayita mu mitendera emituufu.

Omuntu ng'amaze okulwanira emmere
Ye ssentebe wa divizoni Eno Ssalongo Joseph Matovu wano wasinzidde nategeeza abatuuze nga bwebasazeewo okutoola akatono kebalina okukabawa era neyeyama okukwatagana na buli gwe kikwatako okulaba nga ayamba abantu be