Kkanso y’eggombolola ya mumyuka Wakiso eggweeredde ku bunkenke oluvannyuma lw’abamu ku bakiise okufuluma nga beemulugunya nga buli kiteeso ekiyisibwa mpaawo kissibwa mu nkola. Ebadde ekubirizibwa sipiika Hakimu Mugalu nga Muwanga Lutaaya y'akiikiridde RDC Justine Mbabazi.