Bakkansala ba NUP e Nakawa nga bakulembeddwamu sipiika wa Nakawa Godfrey Luyombya n'omumyukawe Jalia Nalubwama basiimye akulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okusiima nalonda omubaka wabwe owa Nakawa East Joel Ssenyonyi okukulira oludda oluabula gavumenti.