Abaggyayo empapula okuvuganya ku bwapulezidenti 15 batutteyo emikono egibasemba mu kakiiko k'ebyokulonda. Bannakibiina kya FDC emikono egisemba Nathan Nandala Mafaabi okubakwatira bendera ku bwapulezidenti bagireetedde ku Pickup ne bagyanjulira abakungu.